Amawulire

Abazigu basse omugagga wa n’abakuumi be 2 mu ntiisa!.

Abantu basatu battiddwa mu ntiisa bwe babakubye amasasi n’okubatemaatema e Wakiso.

Bino bibadde ku Skyline Washing bay and parking ku Kavule e Wakiso, abatemu bwe balumbye ekifo ekyo ne batta nnyini kyo n’abakuumi be babiri.

Attiddwa ye Geoffrey Mayende 35 wamu n’abakuumi be okuli Bright Tumusiime , ne Harrison Fred mu kiro ekikeesezza leero.

Poliisi etuuse mu kifo ekyo n’ezuula emu ku  mmundu y’abakuumi omuli  amasasi ana wamu n’enkumbi era ebitutte ng’abizibiti .

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano,  Luke Owoyesigyire, agambye nti , Mayende yasoose kukubira poliisi y’e Matugga essimu nga bwe baabadde babalumbye nti kyokka we baatuukidde nga bamaze okumutta n’abakuumi be.

Ayongeddeko nti batutte embwa okuzuula abatemu , nti kyokka ne zibulwa naye ng’omuyiggo gugenda mu maaso.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top