Abatuuze ku byalo 6 okuli Nampunge , Lubbe, Baale , Mwera , Katikamu ne Gobero muggombolola ye Masuliita mu district ye Wakiso tebasigazza webeegeka luba ennyumba zabwe zitikkuseeko obusolya mu nnamutikkwa w’enkuba afudembye mu bitundu ebyo.
Emmere n’ebimera ebirala bingi bisigadde ku ttaka.
Omubaka w’ekitundu kino ekya Busiro North Nsubuga Paul alambudde ku kitundu ekyo nategeeza nti ensonga zabwe agenda kuzitwala mu wofiisi ya Ssaabaminister wamu ne CAO babeeko kyebakolera mu bwangu abantu abakoseddwa.
Abe Masuuliita enkuba ebalese mu bbanga
By
Posted on