Amawulire

Ab’e Mbale banilizza Bobi munanyi.

 

Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga ‘ Bobi Wine alaze amaanyi e Mbale ng’agenze okuggulawo ofiisi z’ekibiina kya NUP n’oluvannyuma n’akuba olukung’aana olumenye n’emiti.

Ng’akabobero ak’omuwandako eddusu mu nteekateeka ez’okufugako Uganda, ab’e Mbale bamukwasizza effumu eryemitwe esatu nti limutangire abalabe abava mu buli luyi lwonna.

John Baptist Nambeshe (Manjiya) omumyuka wa Pulezidenti NUP atwala obuvanjuba yakwasizza Kyagulanyi effumu, eddiba n’engabo n’ategeeza nti biweebwa omuntu abeera akulemberamu olutabaalo.

Yategeezezza nti emitwe esatu gikiikirira obuvunaanyizibwa obukulu
okuli; okuyigga, okutabaala n’okukuuma awaka. Baabimukwasirizza ku kisaawe kye Busamaga awaakung’anidde abantu abangi.

Abamasaba Kyagulanyi era baamwongeddeko erinnya lya ‘Mubuuya’ lye bagamba nti lya bazira era naye tebamusuubira kudda mabega.

Kyagulanyi yagambye nti we yakulira ng’ekitundu ky’e Mbale be basinga okulima emmwaanyi mu ggwanga kyokka mu kiseera kino waliwo abafuba okulaba nga bazibaggyako nga baleeta bamusigansimbi abataliiyo.

“Kitange yalina abaana 40 era bonna n’abaweerera ng’akozesa ssente ze yafuna mu
mmwaanyi. Kino tekikyasobola kuba buli kintu bakyefunzizza tebakyayagala bannansi babeere na kya bugagga kyonna” Kyagulanyi bwe yagambye.

Embeera y’okukwata abawagizi be yagivumiridde n’asaba abantu nga Swaibu Katabi, Hasbert Nabwere ne Steven Maswabuli bayimbulwe kuba baakwatibwa lwa kumuwagira.

Abaserikale abakuuma ddembe, Bobi Wine nabo yabasoomoozezza bamwegatteko kuba obuwanguzi bwe nabo babuganyulwamu kuba ayagala omuserikale atandikirwako asasulwe akakadde kamu buli mwezi.

Emirimu gyasannyaladde Kyagulanyi ng’ayingira Mbale ne bwe yabadde afuluma ekibuga ekyawalirizza ne bizinensi ezimu okuggalawo bamwote buliro.

Kyagulanyi yabadde ategese kusookera ku leediyo ya Open Gate, naye abagikulira ne bamugaana okwogererako wadde nga yabadde amaze okusasula.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top