Amawulire

Abe Mityana balabudde gavumenti ku ttaka lya Mailo

Abe Mityana balabudde gavumenti ku ttaka lya Mailo

Abakulembeze mu bitundu by’e Mityana ne Mubende bavuddeyo ne balabula gavumenti obutakola nsobi kukyuusa tteeka lya ttaka okujjawo enkola ya Mailo kubanga kino kigenda kuleetawo akasambattuko mu ggwanga.

Bino bivuddeyo mu misomo egyategekeddwa minisitule y’ettaka ng’ekolaganira wamu n’ebitongole okuli Buganda Land Board, Action Aid n’abalal nga gimaze wiiki nnamba mu bitundu bya Mityana, Kassanda, Mubende ne Kyankwanzi.

Okusinziira ku Mayor wa Mityana Municipality Ssalongo Mukambwe Lukonge, ensonga z’ettaka mu Uganda okuzigonjoola balina kukoma ku bantu abakozesa eryanyi ly’emmundu nebagobaganya abantu ku ttaka nga tebayise mu mateeka.

Lukonge agamba nti ebifo ebisinze okugobaganyizibwamu abantu ku ttaka byebyo ebiri ku ttaka eriyitibwa private Mailo okuli abagagga abatundira abantu ku ttaka olwo nebeeyambisa police n’amaguye okubasengula. Ono ayongeddeko nti ettaka ly’obwakabaka lye lyokka eritaliiko mirerembe kubanga Ssaabasajja yateekawo enteekateeka abantu mwebayita okunyweeza obusenze bwabwe.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top