Amawulire

Abebijambiya balumbye abatuuze b’eMakindye.

Okutya kweyongedde mu bitundu bye Buziga mu Makindye olw’ababbi abeyongedde mu kitundu kyabwe nga batambulira ku Pikipiki.

Ababbi, batambula nga balina amajjambiya okutematema abantu n’okubba ebintu byabwe.

Okusinzira ku katambi akali mu kutambula ku mikutu migatta abantu n’okusingira ddala ogwa Tiktok, kalaga ababbi abali ku Pikipiki nga balina amajjambiya.

Ababbi bagezezaako okulumba abamu ku batuuze e Buziga abaabadde balinze ku ggeeti nga balina ejjambiya empya.

Abatuuze, baasobodde okwerwanako ababbi ne badduka ne bagenda.

Mu kiseera kino Poliisi mu Kampala etandiise okunoonyereza ku babbi abali mu katambi, okulaba nga bakwatibwa.

Wabula abatuuze bagamba nti bawangalira mu kutya olwa babbi abeyongedde obungi mu kitundu nga batwala buli kantu.

Olunnaku olw’eggulo ku Mmande mu kiro mu kwaniriza omwaka omuggya ogwa 2024, ababbi benyigidde mu kubba abatuuze mu bitundu bye Kkonge, Makindye mu kumenya amaduuka.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top