Ebyengigiriza

Ab’ebyenjigiriza Banukudde Bishop Ssebagala okugaana ab’embuto okusoma

Ab'ebyenjigiriza Banukudde Bishop Ssebagala okugaana ab'embuto okusoma

ABAKULIRA ebyenjigiriza district ye Buikwe bawakanyiza ekiragiro kyo omulabirizi  w’eMukono Rt. Rev. James William Ssebagala  okugaana abaana abawala abalina embuto mumugalo okuda kumasomero  g’ekanisa okusoma. Bano bagamba nti ekiragiro kino sikya  bwa Katonda kubanga bangi kubaana baana bano tebeyagalira kufuna mubuto nga nabamu kubano bakwatibwa bakadde babwe.

 

Joyce Nalubega Senior Education Officer mu Distulikiti  y’eBuikwe agamba ekyo kugana abayizi bano mumasomero g’ekanisa kikyamu era nti kino kyandivirako eggwanga okufuna omulembe ogutasomye kubanga Disitulikiti  y’eMukono  nge kirina okukolebwa kwekubasomesa engeri gye bagenda okulekamu abaana babwe saako nengeri gye bagenda okuyisibwamu ku somero.

Ono okwogera bino abadde akwasa  amasomero ga gavumenti mu disitulikiti eno agayambibwako eggwanga lya ICELAND   emere  agenda omukisa abaana okumalako olusoma luno.

Kinajukirwa nti omulabirizi  Ssebagala  nga enaku zo omwezi 10 yalagira abakulira amasomero abali mumusango gwe ekanisa mubulabirizi  buno obutakiriza mwana yena kuyingira somero nga ali lubuto oba nga ayonsa nga agamba basobole bazaale bamale okuyonsa balyoke badde musomero ekikontana ne ekiragiro kya gavumenti  ekya lagira amasomero okusomesa abaana bona naabo abalina embuto mumugalo.

Wabula Nalubega agamba  nti kino okubeera kwesitaza baana bano kubanga tebakyagala kufuna mbuto ekyogerwako ne mu kirabo ebitukuvu nga ekyandibadde kikolebwa kwekubanonya bona gyebaali badde mumasomero basome eggwanga lileme okufiirwa bana Uganda.

Ono ayongerako  nti Bishop okugaana abaana bono okusoma kubanga kubasarila musango era nti omulabirizi  asooke alowooza ku mukrisitaayo  owenkya agenda okuyimirizawo.ekanisa nga tanabagoba mumasomero.

Ono agamba nti kino kyekiseera buli avunanyizibwa okukola omulimu gwe eri abaana banno saako no kwogera nabo kinomu singa banabolebwa ate badigenda mu maaso nokuzaala abaana abarala ekigenda okuvamu butafuna bantu ba buvunanyizibwa era ono aawadde  amagezi  foundation bodies nti banno singa bagobebwa bagenda Kutigomya abantu omuli okusika obusawo, okubba abatasomye bangi wabweru banonya engeri gye baberawo.

  Newankubadde  omulabirizi ssebagala  yalagide amasomero  ge obutakiriza  bayizi  bambuto, no abakulira amasomero gano mu disitulikiti eno bagamba  nti tebagenda okugoba mwana yena mu somero era nga abali embuto bakusomera wamu nabaliko obulemu baleme okufiirwa kubanga basangiddwa nga amasomero balina enkola yo okusomesa abaliko obulemu.

 Ekanisa ya uganda mubulabirizi bwe eMukono  ye singamu amasomero  bayambibwako gavumenti mu disitulikiti okuli Mukono  Kayunga, Buvuma ne Buikwe nga mu disitulikiti  y’eBuikwe yoka abaana abaana abawala abafuna embuto mumugalo basooba mu 700.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top