Amawulire

Abeenyigidde mu koppera abayizi ebigezo bakwatiddwa.

Abantu 10 abagambibwa okwenyigira mu kukoppera abayizi n’okubba ebigezo, baagenze ku ofiisi z’ekitongole kya UNEB mu ggwanga okusaba ekisonyiwo.

Ekkumi mu kiseera kino bakyakunyizibwa poliisi y’e Kyebando mu Kampala ng’okubuuliriza kugenda mu maaso. Basuubirwa okutwalibwa mu kkooti ku misango egy’enjawulo.

Ekkumi kigambibwa nti bakwatiddwa mu wiiki ewedde okuva ku ssomero lya His Grace P/S e Kyebando.

Kigambibwa nti Director w’essomero lino David Bakka ng’akolagana n’abamu ku baabadde bakuuma ebigezo bya S4,  okuli Gerald Kairu , omusikawutu Brian Lwanga , baasaze ebbaasa omwabadde empapula za Ssaayansi ezaabadde zitwaliddwa mu kifo ekyo, ne balukuba ebifaananyi ne babiwereza abalala 7.

Abamu ku bagambibwa okuwerezebwa ebigezo bino, kuliko Kyewalabye Director wa Kawempe modern ,  Hakimu Kivumbi  head teacher wa Kawempe modern , Fahad Bukenya owa Home kindergarten and P/S e Najjeera, Hakimu Somadie ne Godfrey Wannyama.

Omwogezi w’ekitongole Kya UNEB Jennifer Kalule – Musamba , agambye nti , bano bagenze ku UNEB ku wiikendi okwetonda n’okwegayirira.

Kalule ayongeddeko nti newankubadde bano baakwatiddwa, naye, tewali kigezo kyonna kyasomoddwa  okuva lwe batandika .

Agambye nti abayizi ba S6 abeewandiisa bali 110,569 okukola ebigezo bino, bw’ogeraageranya n’abo 97,889 abewandiisa omwaka oguwedde.

Ayongeddeko nti wabaddewo okweyongera kwa bitundu 11.4 percent . Ku bano 43 bawala ne 57 balenzi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top