Oludda oluvuganya mu palamenti luganyi okwetaba mu kwogera kw’omukulembeze w’eggwanga ku mbeera y’ebyenfuna okugenda okubeera e Kololo.
Oluvanyuma lw’okutuula kwa kabinenti ey’ekisiikirize enkya ya leero, akulira oludda oluwabula gavumenti mu palamenti Mathias Mpuuga n’ababaka abamu ku ludda oluvuganya batuuziza olutuula lw’abannamawulire ku palamenti ne bategeeza nga bwetagenda kwesitula okugenda mu lutuula lwa leero.
Mpuuga agambye nti oluvanyuma lw’okwogera ne bannakapala ebibiina 6 ku ludda oluvuganya, basazeewo obutalwetabamu olwensonga nti gavumenti ekyalemereddwa okubaako kyekola ekirabwako naddala ku nsonga y’ebbeeyi y’ebintu eyeyongera okwekanama buli olukya .
Ono era agambye nti ensonga endala yaakulaga butali bumativu ku Babaka bannaabwe okuli Allan Ssewanyana ne Muhammad Ssegirinya abaasibwa wabula nga ne bweguli kati tebannafuna bwenkanya nga ye kkooti yagoba okusaba kwabwe okwokweyimirirwa.
Wabula agambye nga 14 omwezi guno, bajja kwetaba mulutuula lw’okuyisa embalirira y’eggwanga kubanga babadde wamu ne palamenti nga bakola embalirira eno.
Bwabuuziddwa ku bannaabwe bakyetwala abayinza okujeema ne beetaba mu lutuula lwa leero, Mpuuga agambye nti bafuga bantu bakulu era buli omu amanyi kyayagala nga tebayinza kukaka muntu yenna kubanga bangi bazze beetaba mu ntuula yadde oludda oluwabula gavumenti lwezize zizira.