Emiranga n’okwazirana bibuutikidde kkooti y’e Nabweru ab’enganda n’emikwano gy’omugenzi Patricia Arinda bwe balabye ku muntu gwe bavunaana okubeera emabega w’ettemu ly’omuntu waabwe eyafiira mu muliro mu bitundu by’e Kawempe.
Bano abaabadde bambadde engoye okuli ebifaananyi by’omugenzi Patricia bagumbye ku kkooti e Nabweru okuwulira ebikwata ku musango gw’okufa kw’omuntu waabwe era bano olwalabye Suzan Kaitesi agambibwa okubeera emabega w’ettemu lino kwe kutandika okumuwereekereza ebigambo wakati mu maziga okutuusa abatwala ebyokwerinda ku kkooti lwe baabalagidde obutaddamu kuwoggana kuba bataataaganya emirimu gya kkooti.
Kaitesi eyabadde yeebisse feesi yonna yaleteddwa mu kkooti mu maaso g’omulamuzi Arthur Ziraba wabula omusango kkooti n’egwongerayo okutuusa nga April 5 2023 kuba omuwaabi wa gavumenti ali mu mitambo gy’omusango guno teyabaddewo.
Kigambiwa nti nga January 12, 2023 mu bitundu bya Kawempe zzooni A mu diviizoni y’e Nabweru, Susan Kaitesi 24 yakuma omuliiro ku kizimbe omwali kizibwe we Patricia 24, n’omusajja Ivan Lukonge era bonna ne bafiira mu muliro guno.
Kaitesi olwaleetebwa mu kkooti e Nabweru ku ntandikwa y’omwezi oguwedde lwebamusomera omusango yagaanibwa okubaako kyayogera kuba omusango ogumuvunanibwa gwa naggomola era nti bwaba ayagala okusaba okweyimirirwa alina kuteeka mu kkooti enkulu erina obuyinza ku misango ekika kino.
Patricia ne Ivan basangibwa bafiiridde mu maka ga Kaitesi e Kawempe era nga kigambibwa nti n’omuliro ogwakwata ekizimbe mwe baali gwakumwa Kaitesi olw’okuba yali ateeberezza kizibwe we Patricia okumwagalira omusajja.
Constance Nteregyereize maama w’omugenzi wakati mu maziga yakukkulumye olw’engeri Kaitesi gy’abalaatamu buli lw’abeera aleetebwa mu kkooti ekintu ekyongera okubeewanisa emitima.
Ono yakubye omulanga wakati mu kkooti olw’ennaku y’okufa kwa muwala we nga kino kyawalirizza abamu ku mikwano n’enganda gy’omugenzi abaabadde mu kkooti okumwanguyira ssaako okumugumya aleme kutaataaganya mirimu gya kkooti.
Maama agamba nti buli lukya ennaku n’ennyiike y’okufa kw’omwana we eyongera okumutawaanya nga yasalawo n’okuva mu kyalo adde mu bitundu ebirinaanye Kampala asobole okulondoola entambula y’omusango guno.
Bano baakoowodde ebitongole byonna okuvaayo okubakwatizaako okulaba nga bafuna obwenkanya era bonna abaali emabega w’okutta Patricia bakangavvulwe ng’amateeka bwe galagira.
Yaweze nga bw’atajja kussa mukka okutuusa nga Kaitesi asingisiddwa omusango kuba obubonero bwonna bulaga nti ye yali emabega w’ettemu lino era nga alina okusibibwa.