Amawulire

Afudde mu kabenje e Seeta.

Abatuuze b’e seta baguddemu entiisa mutuuze munnaabwe bw’atomeddwa emmotoka ebadde yeetisse ssemiti ng’adda awaka n’afiirawo. Umar Farouk Mutumwa ow’emyaka 29 ng’abadde mukozi mu kkampuni ya Blue Band ye yafudde ol’okutomerwa emmotoka eyabadde yeetisse seminti ku lugudo olugenda e Jinja. Mutumwa abadde mutuuze w’e seta ng’akabenje kano kaaguddewo ng’anaatera okutuuka awaka okumpi n’e kkanisa ya Victory nga oyingira Seeta. Mutumwa yaziikiddwa Kawuku mu Kyaggwe ku luguuudo olugenda e Bugerere. Yalese nnamwandu n’omwana wa myezi ena.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top