Amawulire

Agambibwa okuba omulalu alumbye omuserikale n’amuteemateema.

 

Omuserikale wa Reserve Force alumbiddwa agambibwa okuba omutabufu w’omutwe n’amutema amajambiya kumpi kumumiza mukka musu.

Jamadah Mulema 50, abadde omukuumi ku kitebe ne bbanka ya balimi aba Kibinge coffee ye yakiguddeko bw’abadde atutte pikipiki ye gy’abadde yaakagula mu kagalagi akamu e Misanvu mu Kibinge e Bukomansimbi okugyekebejja kyokka omusajja agambibwa okuba omulalu  ategeerekeseeko erya Ssemwogerere abadde akaalakaala n’ejjambiya gy’amusanze n’atandika okumusanjaga.

Kigambibwa nti omuserikale agezezzaako okwerwanako nga bw’akuba amasasi mu bbanga okutiisatiisa Ssemwogerere wabula nga buteerere ebyembi ate essasi ne likwata omu ku batuuze ababadde bazze okudduukira, Twaha Lubowa ku mukono.

Abatuuze bwe baalabye guli gutyo kwe kuleeta emiggo ne batimpula Ssemwogerere okusobola okutaasa omuserikale wabula ng’embeera ye mbi bw’atyo n’addusibwa ne Lubowa mu ddwaliro ekkulu e Masaka okufuna obujjanjabi.

Ssemwogerere akwasiddwa poliisi nayo emututte mu kifo awajjanjabibwa abatabufu b’emitwe mu ddwaliro lye limu.

Mukyala wa Mulema ,Aisha Namayanja wakati mu kukulukusa amaziga ategeezezza nti amawulire ga bba okutemwatemwa gamusanze waka wabula nga tasoose kukkiriza nti kuba yabadde yakomye okwogera naye eggulolimu olw’eggulo n’amutegeezza nga bwe yabadde agenda okujja awaka leero.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top