Omumyuka w’Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Ahmed Lwasa, asabye abantu ba Buganda okuvangayo bawagire enteekateeka z’Obwakabaka naddala ez’ebyobulamu kuba ziri ku mulamwa ogugasa abantu bonna.
Bino yabyogeredde Gomba mu ggombolola y’e Kabulasoke bweyabadde atongoza enteekateeka ey’okugaba omusaayi mu Ssaza ly’e Gomba ku Mmande.
Owek. Lwasa yategeezezza nti kikulu nnyo abantu bonna okujjumbiranga enteekateeka nga okugaba omusaayi singa ziba zireeteddwa mu bitundu byabwe awatali kukakibwa, kubanga zigenderera okutaasa obulamu bw’abantu naddala abo abaabulijjo.
Yayongeddeko n’agamba nti newankubadde Obwakabaka butadde amaanyi ku kaweefube ow’okukungaanya omusaayi, wakyaliwo ebisoomooza bingi, kyokka n’akakasa nti Obwakabaka tebujja kussa mukono okutuusa nga ensonga eno egguse.
Owek. Lwasa yasabye gavumenti nayo okussa amaanyi mu kaweefube ono kisobozese amalwaliro okubaamu omusaayi kikendeeze ku muwendo gw’abantu abafa olw’ebbula lyagwo.
Omwami w’essaza ly’e Gomba Kitunzi, Oweek. Celestino Jackson Musisi, yagambye nti abantu ba Kabaka e Gomba beeteefuteefu okugaba omusaayi okukendeeza ku bbula lyagwo.
Omuttaka Nakigoye Nabiba Samson Lukabya nga yakulira ekika ky’Ekinyomo nga yakiikiridde ssenkulu w’ekitongole kya Kabaka Foundation, yategeezezza nti enteekateeka eno yakusasaanira amasaza gonna mu Buganda , naasaba gyebatannatuuka beetegeke .
Enteekateeka eno ekyagenda mu maaso ng’egenda kukulemberwamu Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Ab’Obusolya, Omutaka Augustine Kizito Mutumba.