Amawulire

Akakiiko k’ebyokulonda kategeezezza nti Kyagulanyi ye Pulezidenti wa NUP gwekamanyi.

Akakiiko k’ebyokulonda katangaazizza ku biwayi ebibiri ebyetemyemu mu kibiina ki National Unity Platform (NUP) nekakasa nti Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine ye mukulembeze omutuufu gwebamanyi.

Kino kiddiridde Moses Nkonge Kibalama okuteekawo ekiwayi ekikye nakiteera amakanda e Kabowa okwawukana ku kya Bobi Wine e Kamokya nga agamba nti bano baava ku ndagaano gyebakola era  enebayisa olugaayu mu ssemateeka w’ekibiina.

Kibalama ne banne bannyonnyodde nti  obwerufu bubabuze mu bukulembeze bwe Kamokya, era wano webasinziira nebategeka Ttabamiruka w’ekibiina eyasalawo bakole ekitebe kyabwe e Kabowa mu Lubaga.

Ekiwandiiko kyafulumiziddwa akakiiko k’ebyokulonda nga June 22, 2022 eri Kibalama ne Paul Ssimbwa nga bonna bammemba ba NUP wamu ne Ssaabawandiisi w’ekiwayi kino Leonard Mulekwah nekakakasa nti Kyagulanyi ye mukulembeze omutuufu gwebamanyi.

Akakiiko k’ebyokulonda  era kajjukiza Mulekwah ne Kibalama ebbaluwa gyebakawandikira nga bakategeeza nga bwebalekulidde ebifo byabwe mu kakiiko k’ekibiina ak’okuntikko nebabikwasa Robert Kyagulanyi Ssentamu ne banne.

Abakulira akakiiko kano era bagamba nti tebanafuna kiwandiiko kyonna mu butongole okuva mu kakiiko akafuzi ak’ekibiina nga kalaga nga Kyagulanyi bwalekuliddde  ekifo kye awamu ne babadde akulembera nabo nga Kibalama ne banne bwe bagamba.

“ Tewali kiwandiiko kyonna mubutongole kyetwafunye nga kiraga okulekulira oba okukyuusa woofiisi oba obukulembeze nga ennyingo nnamba  6.2 (c) (i) eya Ssemateeka w’ekibiina bwegamba kuba omuntu emuwa emyaka 5, ”  Abakakiiko bwebagasseeko.

Era bano Kibalama ne banne babawadde amagezi bwebaba baagala okukyuusa obukulembeze bategeke Ttabamiruka nga bagoberera okulambika kwa Ssemateeka w’ekibiina.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top