Akulira essomero lya Bishop’s SS Mukono Robert Kyakulaga, ategeezezza nti abaana baatandise okutuuka ku ssomero ku ssaawa 12 ez’oku makya era ng’omuwendo gw’abazadde abazizzaayo abaana baabwe ku mulundi guno gusingira ddala nga bwe gubadde emabega.
“Nsuubira nti we bunaazibira tujja kuba tulina omuwendo gw’abaana ebitundu 90% abakomyewo olwo enkya bagenda kugwaayo. Omwaka guno tugusuubira okutandika obulungi naddala mu kiseera kino ng’eggwanga liviiridde ddala mu muggalo naye tugenda kusigala nga tugoberera amateeka,” Kyakulaga bw’agambye.
Ono era asuubizza abazadde ng’essomero bwe ligenda okufuba ennyo okulaba ng’abaana basoma basobole okuyita bulungi.