Amawulire

Akutte mukazi we n’omusiguze nga betta omukwano.

Omusajja akwatidde omusiguze mu nju ng’asinda omukwano ne mukyala we  buli omu n’ategeezza munne nga  bw’asasula enju omukyala gy’asulamu! Omusiguze poliisi emuggalidde kyokka n’ategeeza abaserikale nti naye aludde ng’asasula lenti w’enju omukyala mw’asula.

Omukazi yagambye nti okuva lwe yafiirwa omwana bba yali yavaako ku kitundu era omusiguze y’abadde agenze kumusuzaako  ng’amazima tamwagala byaddala wadde nga baali baagalanyeeko  kyokka bwe baafunamu obutakkaanya n’afuna omusajja omulala .

Embeera eno yawalirizza abatuuze mu Ddobi zooni e Kawempe   ne babayisaamu empi nga bagamba bakooye emivuyo gyabwe kuba gye buvuddeko be bamu abaakayanira omulambo gw’omwana, ekyabawaliriza okuziika omulambo mu limbo y’e Mulago.

Jackson Wamubirigwe   omusirikale w’eggye ezibizi (Reserve Force)  ye yakiguddeko bwe  yasanze Lameka Lule omuvuzi wa Boda Boda  ng’asinda omukwano ne mukyala we  Sanyu Nansubuga mu nju gy’asasula.

Wamubirigwe   yayise abatuuze okwerabirako oluvannyuma obusungu yayagadde okubumalira ku pikipiki ya Lule agiteekere omuliro kyokka abatuuze ne bamulabuukirira ne bamukwata n’atwalibwa ku poliisi.

Omusiguze Lule yagambye nti yadde bamusibye naye akimanyi omwana eyaziikibwa mu limbo e Mulago yali wuwe naye olw’okuba Wamubirigwe yamusuubizza okumutta kye yava tabiremerako ng’okugenda ewa Nansubuga  ye (Nansubuga) ye yamuyise n’amutegeezza nga bba (Wamubirgwe ) bwe baayawukanye ky’ataategedde nti yabadde amulimba .

Yagasseeko nti ekya Nansubuga okugabira omusajja omulala omwana we kyamuluma naye ng’omusajja yaguma ng’okudding’ana naye yabadde amanyi bajja kuzaalayo omulala kyokka ekyewuunyisa Nansubuga agamba ali lubuto lwa  Wamubirigwe lwa myezi esatu!

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top