Amaanyi Alien Skin ge yalaze ku Freedon City nga June 9, 2023 agasitudde bukolokolo n’agatwala e London bw’akubye ekivvulu n’aleka abaayo nga bamwasimula bugolo.
Alien gwe baakazaako erya Ekimenke yasitudde ku Lwokuna ekiro okwolekera London ekya Bungereza nga kigambibwa anti kye kivvulu kye ky’asoose okukuba mu Bulaaya.
Mu kusooka yali yeecanze oluvannyuma lw’omutegesi w’ekivvulu kino ekya Purple Party okumutegeka ne Pallaso ng’agamba nti ye tayimbira ku siteegi y’emu naye.
Alien ng’amannya ge amatuufu ye Patrick Mugalula olwatuuse e London bakira alina Abazungu abamutambulirako nga bwe bamukuba ebifaananyi.
Ekivvulu kyabaddewo ku Lwomukaaga ekiro nga kyayimbiddwaamu abayimbi abalala okwabadde; David Lutalo, Azawi ne Mickie Wine, wabula mu ngeri ennyangu oyinza okugamba nti bano bonna Alien yababbyeeko ‘sho’.
Mu ngeri ey’enjawulo, MC bwe yabadde amuyita okulinnya ku siteegi, yasoose kulagira ne baggyako amataala, olwo n’agamba abadigize buli omu aggyeeyo essimu asseeko ttooci mu ngeri y’okulaga Alien omukwano.
Yamwogeddeko ng’omwana wa Ghetto azze nga yeerandiza yekka n’agamba nti kyatuuseeko kyakuwa abaana b’omu Ghetto bangi essuubi obutaggwaamu maanyi.
Bakira ayogera bino ng’ emizindaalo muvaamu amaloboozi g’ebisolo ng’ empologoma, embwa, engo n’ebisolo ebirala.
Olwalinnye ku siteegi abadigize bonna ne basituka mu butebe ne basala endongo, bakira ayimba nga bwe bamuddamu era oluyimba lwa ‘Sitya Danger’ lwe lwasinze okubacamula ne bamufuuwa pawundi eziwerera ddala.
Omu ku bayambi ba Alien Skin ategeezezza nti ‘Kimenke’ okumanya yacamudde abantu atandise n’okufuna ddiiru endala.
Ku Ssande nga July 2, 2023 agenda kubeera Manchester ku mukolo ogumu gye baamuyise, ate olukomawo e Uganda atandikirewo okwetegekera embaga ya ‘ENKWACHO Festival’ egenda okubeera ku Forest Park e Buloba anti akasiki kaggwa dda ku Freedom City.