Amawulire

Amaggye gabotodde ebyama ku by’okulumba abasirikale baabwe.

Amaggye gavuddeyo ku butambi obuli mu kutambula ku mikutu migatta abantu omuli WhatsApp ng’abantu babuligyo balumbye bannamaggye nga kivudde ku butakaanya ku ttaka mu disitulikiti y’e Kayunga.

Okunoonyereza kulaga nti Sabbanyala wa Baruuli, Maj (Rtd) Baker Kimeze aliko ettaka lye yaguza Kampuni ya GM Company Limited wabula famire ya Sabbanyala ne bawakanya eky’okutunda ettaka.

Okusinzira Major Charles Kabona, omwogezi w’amaggye ow’ekibinja ekisooka, ettaka, kuludde nga kuliko obutakaanya olwa Sabbanyala okulitunda.

Major Kabona, agamba nti amaggye gasindikiddwa okukuuma Kampuni ya GM ssaako n’ebitundu ebiriranyewo.

Agamba nti amaggye mu kulawuna ekitundu nga bali ku mirimu gyabwe, ekimu ku kibinja kya famire abaludde nga bawakanya Sabbanyala okutunda ettaka, kwe kulumba bannamaggye.

Major Kabona alabudde abantu babuligyo okukomya eky’okulumba bannamaggye ng’ekikolwa ekyakoleddwa, kyabadde kisobola okuvaamu amaziga n’okuyiwa omusaayi.

Alabudde abantu okukomya okutwalira amateeka mu ngalo era agamba nti Poliisi n’amaggye, batandiise okunoonyereza ku nsonga ezo.

Amaggye galaga nti ababbi okweyongera okulumba Kkampuni ez’enjawulo, y’emu ku nsonga lwaki Pulezidenti Yoweri Museveni yalagira amaggye okusindikibwayo okunyweza ebyokwerinda, okutangira bamusiga nsimbi okudduka mu ggwanga.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top