Omulabirizi w’eMukono agamba amaka gwe musingi gwe Ggwanga n’olwekyo abafumbo bafube okubeera abakakamu n’okumanya nti amaka galumbiddwa ekiretedde eGgwanga okutabuka wabula bagende babeere eky’okulabirako kisobozese eKkanisa okunyweera.
Bino Kitaffe mu Katonda James William Ssebaggala aby’ogeredde mukusaba kw’okwebaza Katonda ku kabaga abaami abafumbo n’abakyala abafumbo mu Bulabirizi bw’eMukono awamu n’okusiibula Omulabirizi Ssebaggala ne Maama Tezirah Ssebaggala mubutongole ku Kkanisa y’Omutukuvu Yokaana eKangulumira ku kitebe ky’Obussaabadiikoni nga bano bavudde mu Bussaabadiikoni obw’enjawulo obukola Obulabirizi buno.
Mukyala w’Omulabirizi, Tezirah Ssebaggala Nakimbugwe yabulidde mukusaba kuno akutidde abafumbo okulekeraawo okukola okusanyusa abantu wabula bafube okulaba nga byebakola bisanyusa Katonda ate n’okuyambagana okulungamya abaana baabwe kubanga babetaaga nnyo nga bbo abazadde.
Bw’abadde ayogerako eri abafumbo bano n’okubasiibula mubutongole, Bishop Ssebaggala agamba amaka gwe musingi gwe Ggwanga n’olwekyo abafumbo bafube okubeera abakakamu n’okumanya nti amaka galumbiddwa ekiretedde eGgwanga okutabuka wabula bagende babeere eky’okulabirako kisobozese eKkanisa okunyweera.
Ye Sarah Ssewanyana Nabatanzi nga yakulembera abakyala abafumbo mu Bulabirizi bw’eMukono ayogedde ku ebyo ebikoleddwa omuli okuyigiriza n’okulwanyiisa ku butabanguko mu maka,okuzimba Day Care era nga basuubira okuteekawo Canteen ya Mother’s Union.
Mu ngeri y’emu ye akulembera abaami abafumbo, Godfrey Kyeswa asabye abaweereza n’abaami bonna okuwagira ekibina kino n’okukolera awamu okusinga okwogera ate n’okulaba nga baatukiriza enteekateeka zz’ekibina kino.
Okusaba kuno kwetabiddwako Ba Canon, Ba Ssaabadiikoni,Abasumba,Ababuulizi,n’abantu ba Katonda bonna era nga bano basiibudde Omulabirizi Ssebaggala ne Maama mubutongole