Amawulire

Amataba gakubye abatuuze.

Okunoonya emirambo mu ggwanga erya Cameroon mu kibuga Yaounde kukyagenda mu maaso.

Poliisi n’abatuuze bakazuula emirambo 30 ate abasukka mu 20 bali malwaliro ag’enjawulo.

Okusinzira ku Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga, amayumba mangi mu bitundu bye Mbankolo gali ku ttaka.

Embeera yavudde ku nkuba eyatonye okumala essaawa eziwerako.

Minisita w’amayumba Celestine Ketcha agamba nti waliwo okutya nti wansi mu ttaka wakyaliyo emirambo era okunoonya kukyagenda mu maaso.

Abamu ku bantu abaatasiddwa, mwe muli omwana myezi esatu (3).

Okunoonyereza kulaga nti bangi ku batuuze, tebasigaza kantu konna.

Mu kiseera kino, Poliisi n’abatuuze bali mu kunoonya emirambo ate abatuuze bakola kyonna ekisoboka okutaasa obulamu bw’abantu.

Amataba gakubye nnyo abantu mu Africa.

Ate bannansi mu ggwanga lya Liberia bakedde kulonda omukulembeze w’eggwanga lyabwe.

Abantu 19 bebavuganya ku bwa Pulezidenti, okudda mu bigere bya George Weah.

George Weah naye ayagala kisanja kyakubiri.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top