Amawulire

Among alabudde ababaka abakoze obukunzi mu Palamenti.

Sipiika wa Palamenti, Anita Among alabudde ababaka ba Palamenti ku bukunzi bwebatandise okutondawo kyagamba nti kigenda kuleetawo enjawukana nokukozimbya emirimu.

Bino Sipiika Among yabyogeredde mu kutongoza enteekateeka gyeyatuumye ‘Meet Your Speaker’ egendereddwamu okwongera enkolagana wakati w’abakozi ba Palamenti, ababaka ne Sipiika.

Ensisinkano zino zigendereddwamu okwongera omutima ogukola mu bakozi basobole okwongera okuganyula bannayuganda.

Okusinziira ku Sipiika Kadaga abakozi  n’ababaka tebasaanye kweyingiza mu njawukana za byabufuzi nga bakola emirimu gya Palamenti.

“ Mu Palamenti eno, ffenna twenkana  tewali ali waggulu wa munne. Tulina kukolagana bulungi netutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe, tweyawule ku kukola obukuukulu  tutwale emirimu mu maaso,” Sipiika Among bw’agambye.

Sipika Among asabye abakozi mu Palamenti  bakole n’obumalirivu bwonna baleme kwekulembeza naye bakimanye nti Palamenti gyebakolera kyekifananyi kya Uganda yonna.

Ye Kalaani  wa Palamenti,  Adolf Mwesige, ategeezezza nti enteekateeka eno  yaleeteddwa Palamenti okusobola okwanguya emirimu.

Ono asabye abakozi mu Palamenti okuwaayo obudde nga bakola okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa n’ebigendererwa bya Palamenti eno.

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top