Omulamuzi wa kkooti Enkulu Isaac Muwata alagidde abavubuka 6 abali musango gw’okutta Maria Naggirinya okutandika okwewozaako bw’azudde nti obujulizi obwaleetebwa bulina engeri gye bubalumamu.
Omu ku bavunaanibwa Copoliyamu Kasolo okumutegeeza nti agenda kwewozaako asabye kkooti emufunireyo ssente obukadde 50 asobole okulanga mawulire ng’ayita abajulizi be omukaaga batakyamanyi gye babeera.
Kasolo agambye nti Yakima okulaba ku mikwano gye abagenda okumuwolereza bwe yali tannasibwa era okuva olwo tamanyi mayitire gaabwe kubanga talina nnamba za ssimu zaabwe ne gye baali bapangisa takyamanyiiyo.
Omulamuzi Muwata agambye nti bwe yeetegereza obujulizi, obuleteddwa bulina engeri gye bubaluma nga okuggyawo byonna ebiboogeddwaako mu kkooti balina okwewozaako nga bannyonnyola bye bamanyi ku ttemu lino eryakolebwa ku Naggirinya ne ddereeva we Ronald Kitayimbwa; abawambibwa nga August 28, 2019 okuva ku ggeeti ya Naggirinya e Lugunjja ne batwalibwa mu Lusaalu e Nama – Mukono gye battibwa.
Omulamuzi okubalagira okwewozaako akiggye ku bujulizi bwa Isaac Ssennabulya eyasibwa emyaka 40 nga akkiriza omusango eyategeeza nti yali ne banne bonna mu kuwamba n’okutta Naggirinya ne ddereeva we Ronald Kitayimbwa.
Agasseeko lipooti y’amasimu g’abavunaanibwa eraga nti baali mu bitundu by’e Lungujja n’ebirala ebirinaanyewo ku lunaku Naggirinya lw’awambibwa n’obutambi poliisi bwe yabakwata bwe yali ebazzizzaayo e Lungujja we baawambira abagenzi n’e Mukono we baabattira nga bannyonnyola ebyaliwo.
Omulamuzi Muwata era abannyonnyodde nti nga beewozaako basobola okulayira, obutalayira oba okusirika bonna ne bagamba nti baggya kulayira era bayite n’abajulizi.