Ku kyalo Ngombere mu Ggombolola ye Mpunge e Mukono, waliyo abafumbo babiri abafunye obutakanya lwa sente emitwalo esatu omwami z’abadde asaba omukazi, bwagaanye okuzimuwa, kigambibwa omwami n’akwata obutwa naabuwa abaana be babiri omu afiiriddewo.
Omwami ye Oscar Kusasirq, ate abaana be babiri baawadde obutwa ye Onesmas Kusasira mwaka 1 era ng’ono afiiriddewo, wabula ye Osbert Kusasira addusiddwa mangu mu ddwaliro.
Abagalana bano, babadde babeera ku somero lya Ngombere primary school omwami w’abadde akolera obwa askali.
Police mukwebejja ennyumba esanzeemu eddagala lya Rocket erifuuyira ebirime, eriteeberezebwa okuba nga ly’awadde abaana.
Abatuuze bavumiride ettemu lino erikoleddwa ku baana, era nebatutegeeza nti omusajja ono abadde munywi lujuuju, era nti omwenge gwandiba gwe gwamubagudde okusaba mukyala we sente nekifuba, nagaana okuzimuwa nti obuzibu webwataandikidde.
Kigambibwa nti omukyala Brenda Aninayitwe abadde ava kupakasa, ng’asasuddwa shs emitwalo 30,000/=, omwami kwekumudaba sente ezo azimuwe omukyala kyeyagaanye, nti era omwami kwe yavudde okwekyawa naawa abaana obutwa..
Abakulembeze nga bakulembedwamu Kansala Nandawula Agnes, bagamba nti abagalana bano babadde bafuna obutakkaanya obw’amaanyi, era nga n’olumu baabatuzaako nebabasaba baawukane.
Wabula Oscar Kusasira asangiddwa ku mpingu ku ddwaliro lya Herona e Kisoga gye yabadde agenze okufuna obujanjabi, nti kubanga naye yewadde obutwa ng’ayagala kwetta, abyegaanye eby’okuwa abaana obutwa, n’alumiriza omukyala nti yeyabawadde obutwa.
Police y’e Mukono emuggyeyo mu ddwaliro nemuteeka ku kabangali yaayo agende abitebye.