Poliisi mu district ye Soroti etandise omuyiggo gwÓmusawo wékinnansi ayitibwa Opolot Simon okuva mu district ye Kaperabyong eyagala annyonnyole ku ngeri ab’oluganda ababiri gyebaafuddemu.
Kigambibwa nti omusawo ono yapangisiddwa musajjamukulu owemyaka 60 Emolu Joseph okukwata
ababbye enteeye , kyokka gyebyaggweredde nga batabani ba muzeeyi ono 2 bafudde.
Abatabani abaafudde kuliko Ecitone Micheal 30 ne Okello Levis 40.
Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga annyonyodde nti muzeeyi Emolu yasooka kuddukira ku police n’awaaba omusango ogukwata ku bubbi bw’ente ye, wabula tekyamumalira n’apangisa n’omusawo w’ekinnansi naye amuyambeko okukwata ababbi.
Ebyembi omusawo bweyatuusibwa awaka n’atandika okutabula eddagala lye, batabani b’omuzeeyi 2 beryakutte nebatondoka nebagwa eri nebatandika okusambagala.
Omusawo Opolot bweyalabye guli gutyo n’asaba muzeeyi Emolu amwongereyo obukadde bwa shs 2, abatabani abaggyemu eddagala, ebyembi sente yabadde akyazinoonya abaana bombi nebafa.
Omusawo w’ekinnansi yemuludde n’abulawo n’okutuusa kati tamanyiddwako mayitire era police emunoonya.
Fred Enanga agambye nti byebaakazuula biraga nti omusawo wékinnansi ono Opolot Simon tamanyiddwa mu bitabo byábasawo békinnansi , era nga kati aliira ku nsiko