Amawulire

Aba Ganda Boys bakozze ebyafaayo n’oluyimba lw’ Ekitiibwa kya Buganda.

Bannayuganda abayimbi Denis Mugagga ne Daniel Ssewagudde abamanyiddwa nga ba Ganda Boyz bakoze ebyafaayo bwebasitudde oluyimba lw’ Ekitiibwa kya Buganda nebalufuula oluyimba lw’Ennono olusoose okuyimbibwa kkwaaya ez’enjawulo okuva mu ssemazinga 6 nnamba kwezo 7 ezikola ensi yonna.

Bw’owulira oluyimba Ekitiibwa kya Buganda tolemwa kukkiriza mulimu Mugagga ne Ssewagudde gwebakoze okutumbula Obuwangwa, Ennono nebyo ebikwata ku Buganda okwetoolola ensi yonna.

Bano oluvannyuma lw’okukwata kkwaaya ez’enjawulo ez’ abazungu nga bayimba oluyimba luno basazeewo baluwe Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ng’ekirabo kya Sekukkulu y’omwaka guno.

Kinajjukirwa nti omwaka gwali gwa 1939 Rev Polycap Kakooza natuula nayiiya oluyimba  luno nga oluyimba olutongole olw’ Obwakabaka bwa Buganda n’ekigendererwa ky’ okusuusuuta Kabaka n’okuyimusa ensi Buganda era nokuyamba abalala okumanya nokuwa Buganda ekitiibwa.

Wabula kati emyaka 83 ekirooto kya Rev. Kakooza kyasobola okutuukirira si mu Buganda yokka wabula n’okwetoloola ensi yonna ku Ssemazinga ez’enjawulo.

Okumalirira ddala ebbanga lya myaka esatu, Mugagga ne  Ssewagudde babadde basisinkana kkwaaya ez’enjawulo ku ssemazinga ez’enjawulo okuli  America, South America, Asia, Europe, Antactica ne Africa okuzitendeka n’okulaba wezituuse mu kukwata n’okuyimba oluyimba luno.

Kkwaaya zino , zirina ebibiina eby’enjawulo ebizigatta era okusobola okukola omulimu obulungi zibadde zisooka kukola kunoonyereza ku lulimi n’obuwangwa bwa Buganda olwo nno n’ezikkiriza okuba ekitundu ku nteekateeka eno .

Mugagga agamba nti yonna gyebatuuse nga banoonya abantu abookukola nabo babadde basinga kulembeza mutindo awamu n’obukugu okusobola okuggyayo omulimu obulungi wadde nga kino kibadde kyetaaga obudde obuwerako n’okukeeleya omulimu kuba babadde bayiga kigambo ku kigambo.

Kino kyeyolekera bulungi mu mulimu ogwayanjuddwa embuga omuli engeri abazungu gyebakakasizza enjatula y’ebigambo awamu nokuwomesa olulimi.

Abavubuka  ba Ganda Boys, abamu basoose kubamanya ku kitiibwa kya Buganda, naye Mugagga ne Ssewagudde basooka kuyimbira kuno nga bayitibwa da Twins. Bwebaasenvula nebadda e Bungereza, yadde bali mu bantu aboogera era abategeera oluzungu, baasigala bayimba mu Luganda.

Bano bayimbye ennyimba nga Bakisimba, Tweyanze, Kagutema n’endala nga zino zonna bazikwata bambadde engoye zekifirika nebivuga ebiggyayo ennono n’obuwangwa bwa Buganda okuli Ennanga, Adungu, engoma emirere n’ebirala.

Nga beyambisa oluyimba Ekitiibwa kya Buganda, era baagala amawanga ga bazungu okusiima obuwangwa obuli mu Uganda nengeri gyebukuumiddwa okutuuka kati nolulimi ssi nakindi n’oluganda batandike okulwogera.

Oluyimba Ekitiibwa kya Buganda, akadde kano lumaze okukwatibwa era ekirindiriddwa kusabuukulula ebitundu byalwo byonna 5. Omulundi ogusookedde ddala mu byafaayo bya Uganda, obukulembeze bwennono nenyimba, Oluyimba Ekitiibwa kya Buganda lwelugenda okusooka okufulumizibwa mu maloboozi agatali ga kuno.

Ekitundu ku lwo ekyakafuluma kyoleka amaloboozi ageggono akawoowo, ate nga luyungiddwa mu bivuga ebiri ku mutindo gw’ensi yonna.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top