Poliisi e Mbale ettukizza ebikwekweto neeyoola ba malaaya 20 mu kufuuza abamenyi b’amateeka mu kibuga. Kino wekijjidde nga obumenyi bw’amateeka mu Mbale ennaku zino businze kwenyigiramu bakazi nga bano banyaga ensawo z’abakazi, amasimu ne birala, wabula ba malaaya bwe batuuse ku poliisi ne bawera okwanika abaserikale ba poliisi ennawunyi ababagula ate nebabeefuulira ne babasiba nga bagamba nti bamenyi b’amateeka, era ne batiisatiisa okweyambulira ku poliisi nga balaga obutali bumativu bwabwe ne poliisi. “Bwetuba tuli bamenyi b’amateeka lwaki abaserikale ba poliisi batugula?” ba malaaya bwe babuuzizza. Ye omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Elgon Rogers Tayitika yakakasizza okukwatibwa kwa bano era n’agamba nti poliisi ekyagenda mu maaso n’ebikwekweto byayo nga balwanyisa obumenyi bw’amateeka, ababbi bakolagana n’abantu bano y’ensonga lwaki ne poliisi bweba ekola patulo zaayo tebataliza. “Abakazi bano oluusi beyambisibwa ne mu kubba pikipiki ku bavuzi ba boodabooda” Tayitika bwe yategeezezza. Ku nsonga ya baserikale ba poliisi okugula ba malaaya bano agaanyi okubaako kyayogera. Mu kiseera kino abakwate bakuumirwa ku poliisi e Mbale.