Amawulire

BA MUKAJANGA BAKYALI MU UGANDA -BISHOP ZZIWA

Ssentebe w’ekibiina ekigatta abasuumba babakatuliki mu uganda ekya Uganda Episicople Confrence era nga yakulira essaza lye Kiyinda Mityaana Bishop Joseph Anthony Zziwa avudde mumbeera n’atabukira abo   pulezidenti museveni kubasibe abaggalirwa olw’ebyobufuzi.

 

Zziwa okwogera bino yabadde ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo mu kukuza olunaku lw’abajulizi ba Uganda, olukuzibwa nga 3, June buli mwakaka.

 

Ono yagambye nti,‘’Tetuyinza kwogera kumirembe nga mukiseera kino waliwo banna uganda abakyaali mu makomera nga n’abamu battibwa nga bakubwa amasasi nga muwala wa Gen.Edward Katumba Wamala ne ddereva we Haluna Kayondo, kino kitegeeza nti mu uganda mukyalimu bamukajanga abatujju, tusaba gavumenti okukola kuba mukajanga abatugumbula abantu. Tusaba gavumenti okuyimbula abasibe bonna abakwatibwa olw’ebyobufuzi, kuba kati ebyobufuzi byawedde’’ bwatyo omusumba Zziwa bwe yategezezza.

 

Mukajanga ayogerwako yali musajja mukambwe nnyo era ye yakulira okutulugunya n’okutta abajulizi ba Uganda e Namugongo wansi w’ebiragiro bya Ssekabaka Mwanga, oluvannyuma lw’okumujemera.

Akola nga Ssabasumba w’essaza ekkulu erye kampala Bishop Paul Ssemwogerere yennyamidde olw’obunkenke eggwanga kwe litambulira omuli n’okukozesa obubi emmundu ekiviriddeko obulamu bw’abantu okusanyizibwawo, bwatyo n’asaba ebitongole ebikumaddembe omulundi guno okukola okunonyereza era n’okukangavula abatemu abatta abantu nga bakozesa emmundu. Ekitambiro kya mmisa kyakulembedde omusumba w’essaza lye masaka Severus Jjumba, era nga gwetabiddwako abantu batono okusobola okwetangira okusasanya ekirwadde kya covid -19.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top