Amawulire

Baatuwa shs: 500,000 – abagambibwa okutta omulamuzi kagezi.

Okuwulira emisango gyonna egyekusa ku by’okutta eyali omuwaabi wa Gavumenti Joan Namazzi Kagezi nga March 30, 2015 kulinze kuwulirwa.
Yattibwa bwe yali adda mu makaage e Kiwatule Nakwa mu Kampala.
Enkya ya leero, amyuka ssaabawaabi wa Gavumenti Thomas Jatiko asabye omulamuzi wa kkooti e Nakawa Elias Kakooza, abakwate bonna 4 basindikibwe mu kkooti enkulu ewozesa emisango gya bakalintalo.
Abakwate 4 kuliko Daniel Kisekka nga mwoki w’amanda asangibwa Nsanvu e Kayunga, John Kibuuka, Nasur Abudallah Mugonole ne John Musajagge nga ono ali mu kkomera e Kitalya nga bali ku misango gy’obutemu n’okulya mu nsi olukwe.
Jatiko agamba nti mu kkooti, bagenda kwesigama ku bujjulizi bwokka, obufuniddwa wakati mu kunoonyereza.
Bano, kati balinze kkooti enkulu ewozesa emisango gya bakalintalo, okuteekawo olunnaku okutandiika okwewozaako.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top