Amawulire

Babiri bakwatiddwa ku misango gy’okutta empologoma.

Ekitongole ekivunanyizibwa ku bisolo byomusiko ekya Uganda Wildlife Authority kikutte abantu babiri ku bigambibwa nti baliko kyebamanyi ku Mpologoma ezafudde mu kkuumiro ly’ebisolo erya Kipedo National Park.

Gyebuvuddeko waliwo Empologoma bbiri ezasangiddwa mu kkuumiro eryo nga zifudde, kyokka nga kigambibwa nti kirabika zaweereddwa butwa, ekyaviirako ekitongole Kya UWA okutandika okukola okunonyereza ku ensonga eno.

Omwogezi w’ekitongole kya Uganda Wildlife Authority Bashir Hangi ategezezza cbs nti abakwate bakutwalibwa mu mbuga z’amateeka babitebye.

Hangi asabye abantu okukolera wamu nabo okukuuma ebisolo byomunsiko ebyo, kuba biwa e ggwanga ensimbi mpitirivu eziva mu balambuzi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top