Ennaku zino, mwanamuwala Bad Black eyali amanyiddwa mu kumansa ssente abadde teyessa nnyo mu butaala era ng’abamwagala bamunoonya bunoonya okumuggyako yintaviyu. W’osomera bino nga Shanitah Namuyimbwa ono, eyasibwako ne mu kkomere e Luzira okukumpanya ssente z’omuzungu eziri mu buwumbi, ayingizzaawo enzirusi manya kapyata. Wiiki eno yagenze okutandika nga yeemulisa nga bw’awaga nti kati mukyala wa kiraasi. Mmotoka eno ekika kya ‘E Class’, agamba nti ye kkenyini ye yagyetumirizza okuva ebweru w’eggwanga. Kyokka aboogezi abamu baamuwakanyizza nti balina obukakafu nga bwe yagiguze mu kkampuni emu entuda mmotoka ku Lugogo by Pass.
Bad Black aleese kapyata.
By
Posted on