Amawulire

Bakubye Gavumenti mu Kkooti ku Tteeka lya Nsereko.

Abantu 13 baddukidde mu kkooti etaputa Ssemateeka nga bawakanya etteeka eppya elyateereddwako omukono Pulezidenti Yoweri Museveni nga Octobeer 13, 2022 okulung’amya enkozesa y’Omutimbagano.

Etteeka lino lyabagibwa mu mwaka gwa 2011 nekigendererwa ky’okukomya okukozesa obubi omutimbagano awamu nokusaasaanya amawulire ag’obulimba naye lyazzeemu okutereezebwa mu 2022 era neriyisibwa mu July 19, 2022.

Bano abaddukidde mu kkooti bawakanya obuwaayiro 7 bwebagamba nti bukontana n’amateeka g’ eggwanga.

“ Lino ly’ etteeka erisaanye okumenyebwa era tujja kulimenya kuba tugenda kuwandiika ku babbi era tubawanikeyo,” Munnamateeka wa bano Arinaitwe Peter bwe yannyonnyodde.

Arinatwe agamba nti bakutandikirawo okumenya etteeka lino nga bwebalinda okusalawo kwa kkooti ku nsonga eno.

Omu ku bano, Norman Tumuhimbise yannyonnyodde nti bakulwana okufiirawo kuba balina okuyamba abantu nga mutabani wa Pulezidenti Museveni, Gen Muhoozi Kainerugaba obutakwatibwa tteeka lino kuba y’omu ku basinga okukozesa obubi omutimbagano.

Ono agamba nti bakukunga abantu okumenya etteeka lino buli ddakiika  nga bawandiika ku bakulembeze abalemwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe kuba yengeri yokka gyebasobola okubagambako.

Etteeka lino erya ‘Computer misuse Amendment act’ ligufuula omusango  okukozesa obubi omutimbagano gwa Sosolo Mediya kuba yesinga okukozesebwa obubi.

Kati tewali muntu yenna akkirizibwa kukwata akatambi oba eddoboozi ly’omuntu nga tategedde nga singa gukusinga okusasula obukadde 5 oba okusibwa emyaka 5 oba byombi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top