Amawulire

Baliko byebazudde ku baalumbye Poliisi y’e Busiika – Enanga

Poliisi  y’eggwanga nga bali wamu n’eggye lya UPDF bakoze okunoonyereza nebabaako byebazuula ku batemu abalumbye poliisi y’e Busiika ku Mmande akawungeezi nebatta abasirikale bebasanzeewo era n’emmundu nebazitwala.

Omwogezi wa Poliisi  mu kitundu kino, Patrick Lule agambye nti bamaze dda okusalako ekitundu kino mu Luweero okuzuula abatemu bano abakuliise n’emmundu 2 nnamba ne bonna ababadde mu lukwe luno.

Ono annyonnyodde nti abazigu abalumbye babadde 7  nga balina emmundu naye nga beeyawuddemu ebibinja 3 era bano bebakoze obulumbaganyi buno.

Okusinziira ku poliisi, abazigu bano batuuse bakuba buli gwebasanzeewo amasasi era okukakkana ng’ akulira okunoonyereza ku poliisi eno Wagaluka Alex bamusse awamu ne Ongol Moses.

Ng’ayita mu kiwandiiko kyafulumizza enkya ya leero, omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga ategeezezza nti abazigu bano balumizzan’abapoliisi abalala babiri okuli; Ochom Adrian ne Odama Stephen era bano baddusiddwa mu ddwaliro ly’ Amagye e Bombo nga bali mu mbeera mbi.

Enanga agamba nti abazigu bano bagezezaako okukuma ku poliisi eno omuliro nga baagala fayiro zonna ezirimu zisaanewo wabula abatuuze bayanguye nebaguzikiza era tewali kyasanyeewo.

Ono annyonnyodde nti wadde okunoonyereza tekunaggwa naye bano balabika bagenderedde kubba mmundu nga y’ensonga lwaki basse ababaddewo era n’emmundu nebazitwala.

Gyebuvuddeko era waliwo abazigu abaalumba abasirikale ba poliisi y’ebidduka abaali basudde emisanvu ku luguudo lwe Luweero nebabatemateema era waliwo abafiirawo,  n’ emmundu nebazitwala.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top