Amawulire

BAMBI! Ssaabaminisita agobeddwa.

 

Pulezidenti we Guinea-Bissau, Umaro Sissoco Embaló agobye ssaabaminisita Geraldo Martins gw’abadde yakalonda okutambuza emirimu.

Pulezidenti Embalo yasooka kulonda Mr Martins mu August, 2023 wabula yagobeddwa ku ntandikwa y’omwezi guno ogwa December, 2023, Pulezidenti bwe yagobye kabinenti yonna.

Kigambibwa yabadde afunye amawulire nti waliwo abali mu ntekateeka z’okuwamba obuyinza, nga y’emu ku nsonga lwaki Kabinenti yonna yagigobye.

Wiiki ewedde, Pulezidenti Embalo yazzeemu okulonda Mr Martins ku bwa Ssaabaminisita.

Wabula mu kiro ekikeeseza olwaleero ku Lwokuna, Pulezidenti Embalo alonze Rui Duarte de Barros ku bwa Ssaabaminisita okudda mu bigere bya Mr Martins.

Rui Duarte de Barros yaliko Ssaabaminisita mu nkyukakyuka ezaali mu West Africa wakati wa 2012 – 2014.

Omwezi oguwedde, waliwo okusika omuguwa mu maggye wakati w’ebiwayi bibiri (2) mu kibuga Bissau, Pulezidenti Embalo bwe yali mu kibuga Dubai mu lukungaana lw’ekibiina kya mawanga amagatte olwa COP28.

Pulezidenti Embalo yasuubiza eggwanga, okusiba abantu bonna abaali mu lukwe lw’okuvunika Gavumenti.

Mu kiseera kino ebyokwerinda byongedde okunywezebwa mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo, okulemesa omuntu yenna ayinza okutaataganya ebyokwerinda by’eggwanga.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top