Abazigu abatanamanyika balumbye ka banka k’abegassi ku kyalo Nanguunga mu gombolola ye Ngogwe mu district ye Buikwe aka SAO-Ngogwe savings and credit, bakuuliise n’emmundu bbiri n’ensimbi enkalu ezitannamanyika muwendo.
Bino bibadewo mu kiro era police enkulu e Lugazi etuuse mubkifo kino n’embwa yaayo etandise okunoonyereza.
Abakuumi ababbiddwako emmundu police ebakutte ebayambeko mukunoonyereza.
Abakulembeze nga bakulembeddwamu councillor Kato Henry ne Ssekkubulwa Samuel Sentebe we kyalo bategezeza nti kibewunyisizza kubanga akawungeezi kajjo baatuuzizza olukiiko okwogera ku bubbi obukudde ejjembe mu kitundu.