Amawulire

Bannabutambala basabiddwa okwettanira okugaba omusaayi.

Abantu ba Kabaka e Butambala basabiddwa okwettanira okugaba omusaayi bulijjo bataase abagwetaaga kuba guno tegulina kkolero.

Okusaba kuno kwakoleddwa Vicar wa Lutikko y’e Kasasa mu Central Buganda, Rev. Capt. Saul Masembe bweyabadde atongoza okugaba omusaayi mu ggombolola ya Ssaabaddu e Ngando mu Butambala.

Rev. Masembe era yasabye Bannabutambala okukolanga ebikolwa eby’ekisa n’ekiruubirirwa eky’okutaasa abali mu bwetaavu nga Yesu Kristo bwe yakolanga.

Enteekateeka eno ewomwamu omutwe ekitongole kya Ssaabasajja Kabaka, ki Kabaka Foundation nga bali wamu ne bannamikago aba Uganda Blood Transfusion Services ne Uganda Red Cross Society, nga bakwasizaako minisitule ey’Eby’obulamu mu Buganda ne Uganda okulwanyisa ebbula ly’ omusaayi.

Ssenkulu wa Kabaka Foundation Omuk. Eddy Kaggwa Ndagala, yasabye abantu okufaayo okumanya embeera y’obulamu bwabwe kuba Kabaka abaagla nga balamu.

Omwami w’essaza ly’e Butambala, Haji Sulaiman Magala, akunze Bannabutambula okujjumbira enteekateeka eno kubanga ya Bulungibwansi ate etaasa bulamu bw’abantu.

Atwala eby’obulamu mu Butambala, Hajji Jamir Mukwaya Lutaakome, yategeezezza nti kaweefube w’okugaba omusaayi atandise bulungi era n’akunga abantu bonna okujjumbira bataase obulamu.

Omukungu okuva mu Uganda blood Transfusion Services, William Mugisha, yasabye ebantu b’ebitundu ebirala ebya Uganda okulabira ku Buganda nabo batandike ku kaweefube w’okukungaanya omusaayi n’ekigendererwa oky’okutaasa obulamu.

Enteekateeka eno yaakutalaaga eggombolola zonna eziri mu Butambala okuli: Ssaabaddu Ngando; Mumyuka Kalamba; Ssaabawaali Bulo; Musaale Budde n’e Ssaabagabo Kibibi, ng’ejja kukommekkerezebwa nga 2 September, 2022

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top