Bannadiini okuva munzikiriza eyenjawulo bavumiridde ebikolwa ebikaafiri ebibadde mu mwaka 2021 ne basonga kubyebasuubira mu mwaka omugya 2022. Mu mwaka omujja, bangi bawanjagidde pulezidenti Museveni okugyawo omuggalo, bavumiriridde ebikolwa ebirinyirira eddembe ly’obuntu ebikolebwa Ebitongole ebikuumaddembe n’ekibba ttaka ekyeyongedde mu bitundu bye gwanga ebyenjawulo.
Pasita David Michael Kyazze:
Omwaka oguwedde gubadde gw’amuliro nnyo kuba banna Uganda mwebalondedde omukulembeze w’egwanga n’abakulembrze kumitendera egyenjawulo. Mubaddemu okweyogerera ebisongovu eri abawangula n’abawangulwa era abamu emisango gikyaliyo mu kooti ezenjawulo.
Omwaka guno omugya, tusuubira omukulembeze we gwanga okukendeeza ku muggalo, ate n’okwongera okwogerako eri Ebitongole ebikuumaddembe ebiyitirizza okulinnyirira ennyo eddembe lyobuntu.Abantu bangi babadde baddiridde nnyo mu kukirizza nga bekwasa covid-19, Naye omwaka guno omugya, pulezidenti n’agyawo ekkomo, tusuubira àbantu okweyongera ate n’okusabira eggwanga n’ensi yonna okusobola okuvunuka ekirwadde kino ekitumazeko àbantu baffe.
Bishop Joseph Anthony Zziwa: Ono ye ssentebe w’olukiiko olugatta abasumba abakatuliki mu Uganda. Agamba nti ekirwadde Kya Covid-19 kituyisizza bubi nnyo mu mwaka oguwedde era abantu baffe bangi bagugendeddemu ate n’omugalo oguyitiridde oguvuddeko abaana baffe abali basoma okufuniramu embuto nga tebannetuuka.
Ebikolwa ebyettemu omuli ebijambiya ebyali ennyo e Masaka, Bbomu, obubbi bw’ettaka okutta abakwate nga tebasoose kuwozesebwa n’okukwata abasibe ababeera batereddwa kooti, okuwambira abantu mu “drown” ne basibwa ebbanga nga tebatwaliddwa mu kooti n’okutulugunya abamu kubavuganya gavumenti, byebimu kubyeyolekedde mu mwaka oguwedde.
Tusaba Katonda atuyambe mumwaka guno omugya ekirwadde Kya COVID-19 ekibadde kitadde ensi kubunkenke ne kumuggalo kyeyongere okukendeera abantu baffe baddemu okweyagala. kikendeera, era tukibira ebitongole bya gavumenti omuli ebikuumaddembe okulaba nga bikwata bulungi abantu naddala abo ababeera bateberezebwa okuzza emisango egyenjawulo, ate n’omulanga eri essiga eddamuzi okwanguya okuwulira emisango gyabavunanibwa obwenkanya busobole okweyoleka ku bawabi n’abawabirwa.
Ssabalabirizi Dr. Steven Kazimba Mugalu: ono ye Ssabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, agamba nti omwaka guno 2022 gwakusabira nnyo gwanga lyaffe n’ensi yonna okulaba ng’ekirwadde Kya covid-19 ekimaze emyaaka ebiri nga kijojobya ensi nga kikendeera. Tulina okulaba okulaba ng’ebikolwa ebimennya amateeka omuli okubba, ebitongole bya gavumenti naddala poliisi okutulugunya bannansi nga bikendere nnyo mumwaka guno omujja. Nsuubira okulaba nga bannauganda bakyuusa eneyisayabwe mu mwaka guno, ate n’ababba ettaka lye kkanisa nga benennya ne badda eri omutonzi.
Sheikh Sulaiman Guggwa:
Ono ye ssentebe w’ekibiina ekigatta ba immam mu Uganda. Agamba nti, omwaka guno gubaddemu Okusomozebwa kungi omuli gavumenti okukwata n’okutta Abasilamu nga tebamaze kuwozesebwa, àbantu abesobola omuli n’abakozi ba gavumenti okwezza sente Ssabaminista Nabbanja ze yagabira abamu mu muggalo n’abantu baffe abafudde ekirwadde Kya covid-19. Omwaka guno tusaba pulezidenti okukendeeza ku muggalo, kuba àbantu baffe bangi tebakyesobola olw’okuba emirimu gyabwe guayimirizibwa okusobola okutangira okusasanna kw’ekirwadde.
Omwaka guno era tusuubira okulaba ng’enkolagana wakati wa gavumenti n’abali kuludda oluvuganya ng’eterera ate n’okulaba ng’abasibe abavunanwa emisango egyekuusa ku byobufuzi nga bayimbulwa. n’okuyimbula banna byabufuzi
Bishop Jacinto Kibuuka:
Ono y’akulira evangelical Othodox Church mu Uganda era y’akulira mamre International Church e Namugongo, agamba nti omwaka àbantu baffe bandibadde omwaka baguyingira begayirira omutonzi wabwe ate n’okumusaba bye bagala abakolere mu mwaka omugya, Naye olw’embeera eriwo, àbantu baffe tebakyasobola kwetaaya bulungi nga basinza omutonzi wabwe olwa covid-19.
Mumwaka guno omugya, tugenda kwongera okwegayirira ennyo omutonzi okutujirawo ekirwadde ekyo ate n’okwongera okumwebaza olw’okututaasa n’atukuuma nga tukyali balamu. Tusuubira nti omuggalo bwe gunaba gukendezeddwa nga bwe tusuubira, àbantu baffe bajja kwongera okweyagalira munsi yabwe ate ne gavumenti okwongera okufuna omusolo mu bizinensi ezinabeera ziguddwa.