Bannamaggye 5 abaakwatiddwa ku misango gy’okutulugunya omuntu, olunnaku olwaleero, bagenda kutwalibwa mu kkooti y’amaggye.
Bannamaggye baakwatiddwa katambi nga baliko omusajja gwe bakuba emiggo ng’asimbiddwa ku miguwa.
Oluvanyuma lw’okunoonyereza, Col. Deo Akiiki, amyuka omwogezi w’amaggye mu ggwanga agamba nti omusajja eyabadde mu katambi, yabadde mubbi wa Pikipiki kyokka basajja baabwe baakoze ensobi okudda ku mubbi okukuba.
Bannamaggye abaabadde mu katambi kuliko
Cpl Odong Otto Richard
Private Mugu Sunday
Private Omara Martin Henry
Private Omara Morris
Private Ogwang Dennis
Bonna okuva mu UPDF 75 Battalion.
Baakubye omusajja nga bali ne akulira eby’okwerinda ku ggoombolola y’e Mucwini (GISO) Simon Obonyo, ssentebe wa LC 3 Onge Christopher.
Omusajja yakubiddwa ku Ssande nga 10, Desemba, 2023 e Mucwini mu disitulikiti y’e Kitgum.
Col. Deo Akiiki agamba nti kiswaza abantu abalina okuba eky’okulabirako ate okudda mu kutwalira amateeka mu ngalo.