Amawulire

Bennyamivu olw’abafere abasusse okwerimbika mu ddiini y’Obusiraamu.

Bamaseeka abeegattira mu kibiina kya Nabugabo Swadaka ekivunaanyizibwa ku kubudaabuda Bamaseeka n’abantu abataliiko omwasirizi bennyamivu olw’abafere abasusse okwerimbika mu ddiini y’Obusiraamu nga beefuula Bamaseeka ne bafera abantu nga babasuubiza obugagga.

Bano nga bakulembeddwamu akulira Ddaawa mu Nabugabo Swadaka, Sheikh Erimia Rashid Kafuuma okuta akaka baasinzidde Namulanda ku ITEC P/S mu disitulikiti y’e Wakiso ku mukolo kwe basiibulidde Bamaseeka 58 okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo oluvannyuma lw’okutendekebwa kwe babaddeko mu kaweefube w’okubayamba okwongera ku kumanya kwabwe n’okumanya eddiini y’Obusiraamu.

Sheikh Kafuuma alaze obwennyamivu olw’abantu baayise bannakigwanyizi abeerimbise mu Busiraamu olw’okwagala ebyenfuna nga wano anokoddeyo abakubi b’ebitabo abeefuula Bamaseeka n’alabula Abasiraamu okwewalira ddala abafere ab’ekika ekyo n’ategeeza nti abo balabe ba Busiraamu.

Abakulembeze mu kibiina kino nga bakulembeddwamu Hajji Daraus Ssempijja bannyonnyodde ezimu ku nsonga ezaabatandisaawo ekibiina kino omuli; okuyamba Bamaseeka okuyiga butya bwe balina okweyisa mu Basiraamu be bakulembera nga wano asoomoozezza Bamaseeka yonna okwettanira okusoma ennyo nga ly’ekkubo lyokka erigenda okubayamba okulung’amya Abasiraamu mu mpisa z’eddiini nga bwe zirambikiddwa.

Hajji Hussien Kaganda nga y’abadde omwogezi ow’enjawulo ku mukolo guno alabudde Bamaseeka okwewala okululunkanira ennyo ssente z’agambye nti nazo ziggye bangi ku mulamwa ekiviiriddeko n’Abasiraamu abamu okudduka mu mizikiti olw’okutya Bamaseeka okubasabiriza buli kaseera.

Bamaseeka ababanguddwa nga bakulembeddwamu Sheikh Kalule Sadik okuva e Bukomansimbi balaze essanyu olw’omusomo guno nga bagamba nti kibayambye nnyo okwongera ku kumanya kwabwe ne beeyama okussa mu nkola byonna ebibasomeseddwa okusobola okutwala Obusiraamu mu maaso.

Imam w’omuzikiti gwa  Mityana Central Mosque, Sheikh Ismail Nkata yeebazizza Bamaseeka abeewaddeyo okuyiga eddiini yaabwe  n’asaba ba Imam okukomya okusuubira ensimbi mu bwa Imam kubanga buno

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top