Amawulire

Besigye avumiridde ekyókusiba ddereeva wéssiga eddamuzi.

Eyaliko president wa FDC Rtd. Col Dr. Kizza Besigye mwennyamivu olw’ekikolwa ky’okusiba Driver mu ssiga eddamuzi Stanly Kisambira, eyavaayo mu lwatu n’akukkuluma ku musaala omutono ogubasasulwa ng’aba ddereeva.

Kisambira aliko eddoboozi lyeyateeka ku mutimbagano nga yeemulugunya ku nsimbi emitwalo 20 egibaweebwa ng’omusaala buli mwezi so nga bakama baabwe bagabana misava.

Mu ddoboozi lye Kisambira agamba nti ddereeva atali mu mativu asobola okwesuulamu akambaayaaya n’ayingirira ekimmotoka mukama we omulamuzi gwávuga nómukuumi we bonna nebafa.

Kaakano Besigye agamba nti Kisambira tayinza kufuna bwenkanya mu ssiga ddamuzi mwennyini mweyeemulugunya olwokusasulwa era nti ekyokumusiba akiyise kyabutaliimu.

Besigye awadde abakozesa amagezi okutondawo omwagaanya ogusobozesa abakozi babwe okubeeyabiza, kubanga ba “Kisambira” bangi nnyo abanyigirizibwa eyo mu kimugunyu nga tebasobola kweyabiza bakama babwe olw’okutya n’okutiisibwatiisibwa okubatuusibwako.

Wabula omuteesiteesi omukulu mu ssiga eddamuzi, Pius Bigirimaana, yasambajja ebigambo bya Kisambira n’ategeeza nti driver oyo mulimba wa bbaluwa, nti  kubanga asasulirwa ddala omusaala ogusoba mu kakadde k’ensimbi kalamba kale nga yandiba ng’alina “kasajja ku mutima” ke kamutawaanya atuuke n’okulingiza mu luwombo lw’abakulu.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top