Amawulire

Besigye ne Bobi Wine balangiridde enkolagana etandisewo.

Bobi Wine ne Kiiza Besigye balangiridde enkolagana ey’enjawulo mwe bagenda okwetooloolera eggwanga nga bategeka okusaba eggwanga lisobole okuvvuunuka ebizibu bye lirimu.

Eggulo ebibiina by’oludda oluvuganya ebyegattira mu mukago gwa United Forces Of Change okuli; NUP, FDC Katonga, aba DP abatakwatagana na Mao, ekiwayi kya UPC ekitakwatagana ne Jimmy Akena, PPP ne ANT baalangiridde kampeyini mwe bagenda okwetooloolera eggwanga nga batandikira Iganga.

Baasinzidde Katonga ku FDC ne bawera ng’omwaka guno bwe gutali gwa kwebaka. Akulira NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu yasabye Bannayuganda okukomya okubamalamu amaanyi mu bye bakola, wabula babeegatteko kuba bye bakola si byabwe ng’abantu.

Yalaze obwennyamivu olw’engeri bannankyukakyuka gye beerumaaluma n’abasaba kino okukikomya kubanga kiba kibalabisa bulala.

Dr. Kiiza Besigye yeebazizza bannankyukakyuka okubeera nga basigadde bumu okuva lwe bassa omukono ku ndagaano wadde nga bakolera mu mbeera enzibu.

Loodi Mmeeya wa Kampala, Erias Lukwago yagambye nti Gavumenti ekikola mu bugenderevu obutabawa ssente zikola olw’okuba tebabawagira.

Omukwanaganya w’emirimu kya ANT, Winnie Kiiza yasomye ekiwandiiko ekiraga bye batuuseeko okuva lwe bassa omukono ku kiwandiiko ekyawamu.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top