Amawulire

Beti Kamya avudde mu by’okunoonyereza ku bukadde 40 ezaweebwa ababaka.

Beti Kamya ategeezezza nga bwavudde mu kunoonyereza ku nsimbi obukadde 40 ezigambibwa okuweebwa buli mubaka wa Palamenti nga agamba nti abatwalayo omusango baguggyeeyo.

Bino Kaliisoliiso Kamya abyogeredde mu lukung’aana lwa bannamawulire olutudde mu Kampala bw’abadde alambulula ku nteekateeka z’okukuza  olunaku lw’okukaza abakozi bagavumenti okuwa abantu empeereza egwanidde.

Kamya annyonnyodde  nti nga Kaliisoliiso talina buyinza kusigala nga anoonyereza ku nsonga eno ate nga bannanyini yo abagitwalayo bagiggyeeyo era  neyetonda mu lukiiko lwe ggwanga olukulu.

Ono agasseeko nti bannayuganda balina okufuna empeereza esinga okuva mu bakozi ba gavumenti era tebakkiriza okubuzibwabuzibwa awamu n’okumalirwa obudde okuva mu bunafu n’enkola y’emirimu ey’ekibogwe okuva mu bakozi ba gavumenti.

“Enguzi tekoma ku kulyanguzi oba okuwa emirimu abantu abatalina bisaanyizo oba okubulankanya ssente naye n’omuntu alemwa okukola kyateekeddwa okukola  nga ate asasulwa abeera alidde enguzi,” Beti Kamya bw’agambye.

Ono agamba nti enkola y’okumala gakola mu bakozi bagavumenti efiiriza gavumenti ssente nnyingi era esobola okugoba bamusigansimbi nga batya okuteeka kuno ensimbi zabwe nga abantu emirimu bagikola mu ngeri ya neemalidde.

Kamya asabye bannamawulire n’abantu ba bulijjo okuyambako  okwanika abo bonna abakola ebikolwa by’obuli bw’enguzi nga batuuka ekikeerezi awamu n’okwebulankanya ku mirimu.

Okusinziira ku alipoota ya kalisoliiso, wofiisi ezisinze okutunulirwa mwemuli woofisi z’ebyettaka, abakozi ba gavumenti mu gavumenti ezebitundu saako abasawo n’ebitongole ebirala.

Ekitongole kino kigamba nti kifunye emisango 320 okuva mu July omwaka oguwedde era egisinga gitandise okulondolwa.

Ye akulira  okukung’aanya emisango gino,  Justus Kareebe ategeezezza nti emisango egisinga gyekuusa nyo ku bulyazamanya abakozi ba gavumenti, obutakanya mu bakozi saako emivuyo mu bukiiko obugaba emirimu gya gavumenti.

Abakulu bano era balabudde ebitongole byonna ebya gavumenti ku kwerimbika mu woofiisi esembayo waggulu okusobola okukola ebitali ku mateeka nti bubakeeredde kuba amateeka gaba obuyinza okunoonyereza ku woofiisi zonna mu ggwanga nga oggyeeko eya Pulezidenti.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top