Omubaka wa munisipaali y’e Mukono, Betty Nambooze azzeeyo mu America omulundi ogwokubiri okujjanjabibwa, ng’omubaka Dr. Abed Bwanika (Kimaanya – Kabonera) bwe yategeeza gye buvuddeko.
Nambooze yalinnye ennyonyi ku Lwakutaano ekiro ng’awerekerwako bba Henry Nsubuga Bakireke ne boolekera America.
Nga February 15, 2023, Bwanika yasinziira ku ttivvi era n’abiddamu ku leediyo emu n’alumiriza Nambooze nga bwe yateesa ne Gavumenti n’emujjanjaba kyokka omuntu y’omu awakanya eby’okuteesa basobole okuyimbula abasibe abalala abaasibwa ku nsonga z’ebyobufuzi.
Bwanika yasinziira wano ne yeewaana nga bwe yalina bwino alaga nti Nambooze yamaze dda okufuna tiketi z’ennyonyi okuva mu gavumenti ezimuzzaayo mu America.
Ebigambo bino byatabula Nambooze n’asituka mu ntebe mu ngeri y’okwekandagga.
Guno mulundi gwakubiri nga Nambooze ajjanjabibwa mu America ng’okusooka yamalayo emyezi mukaaga mu June wa 2022 n’akomawo mu December. Eyagendera ku miggo yakomawo atambula bulungi.
Ebbanga Nambooze ly’agenda okumalayo teryategeerekese, kyokka abamuli ku lusegere baategeezezza nti bagenda kuddamu okumulongoosa omugongo n’omusuwa ogumu ogutambuza omusaayi gw’agamba nti gwafunda olw’okutulugunyizibwa mu 2017.
Omulundi ogwasooka nga tannasitula, olukiiko lw’abakugu olwa Medical Board lwe lwamuwa olukusa oluvannyuma lwa Sipiika Anita Among okubiyingiramu n’alagira aweebwe obujjanjabi obusingawo mu bwangu. Mu kiseera ekyo Nambooze yali ajjanjabirwa mu ddwaaliro e Lubaga.
Nga August 3, 2022 eddwaaliro lya Bellevue Hospital Medical Centre, Nambooze gye yali ajjanjabirwa lyawandiikira Sipiika wa Palamenti ebbaluwa eyaliko omukono gwa Polof. Allen Keller ng’eraga ng’omubaka bwe yali yeetaagayo ekiseera ekirala okwongera okujjanjabibwa nga tannaba kusiibulwa.
Omusawo yategeeza nti Nambooze yali alumizibwa enkizi olw’obuvune bwe yafuna. Kyali kyetaagisa abasawo okuddamu okumwekebejja.
Ebbaluwa yategeeza nti Nambooze yali agenze atereera bwe baageraageranya n’embeera abasawo gye baamufuniramu mu America.
Omwogezi wa Palamenti, Chris Obore yategeezezza Bukedde nti buvunaanyizibwa bwa Gavumenti okujjanjaba ababaka ba Palamenti ng’eyita mu bakulira Palamenti.
Nambooze bwatyo naye yasasuliddwa Gavumenti okugenda mu America okujjanjabibwa. Kyokka omuwendo gwa ssente ezaasaasaanyiziddwa yagaanye okuzoogera n’agamba nti kino kisigala kya kyama wakati waabwe n’omubaka.