Amawulire

Bobi abotodde ebyama ebirala ku bayimbi.

 

Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) avuddeyo era ku nsonga za Bannabitone n’okusingira ddala abayimbi.

Bobi Wine agamba nti Gavumenti ekoze kyonna ekisoboka, okusanyalaza ekisaawe kyabwe kyokka waliwo abayimbi abalemeddeko, okulwanirira eddembe lyabwe.

Agamba nti wadde bangi ku bayimbi ne bannabitone bayita mu kaseera akazibu, waliwo abalemeddeko okusigala ku ludda lw’abantu.

Ku Lwokutaano, Bobi Wine yabadde Kavule-Makerere, okulaga bannayuganda firimu ku ngeri Gavumenti gy’etyoboola eddembe lya bannansi.

Emikolo gyetabiddwako abayimbi ab’enjawulo omuli King Saha, Big Eye, Fik Gaza, Mathias Walukaga, Geoffrey Lutaaya n’abayimbi abalala ssaako ne munnakatemba Obed Karim Lubega amanyikiddwa nga Reign.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top