Amawulire

Bobi Wine afulumizza oluyimba olupya lwatuumye ‘Tujune’ .

Akulira ekibiina ki National Unity Platform (NUP) era Omuyimbi, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) awanjagidde Katonda ataase bannayuganda ku mulabe wabwe nga ayita mu luyimba olupya lwatuumye “Tujune.”

 

Oluyimba luno “Tujune” lwakoleddwa  Sir Dan Magic ate vidiyo nekwatibwa aba JahLive. Oluyimba luno Kyagulanyi yalufulumizza eggulo ku Ssande era abamu ku bantu batandise dda okulwettanira nga bayita ku mutimbagano gwa Youtube n’emikutu emirala.

 

Mu luyimba luno, Bobi Wine asaba Katonda asse omukono gwe ku bannayuganda basobole okwetakkuluzaako omulabe wabwe abaleetedde okubonaabona okutagambika.

 

Kyagulanyi mu luyimba luno talaga ani mulabe wadde nga abamu olunwe baatandise dda okulusonga mu Pulezidenti Museveni ne gavumenti ye.

 

“ Nnali mu Ghetto omuntu omu nambuuza oba Katonda yawambibwa nebatatugamba, bwaba akyali mu mitambo gy’ensi n’eggulu lwaki abantu abamu batyoboola okusalawo kwe,” Kyagulanyi bwe yeebuuza mu luyimba luno.

 

Bobi Wine agamba nti abo abakola ebirungi bongera kubonyabonyezebwa abo abakola ebikyamu ekireetedde abantu okuterebuka mu nzikiriza n’okutandika okwebuuza ebibuuzo oba Katonda wabwe yabavaamu.

 

Ono asaba Mukama Katonda okukozesa amaanyi ge nga bwekiri mu byawandikibwa akutule enjegere bannayuganda kwebasibiddwa era abanunule okuva mu mikono gy’abalabe baabwe.

 

“Tubakola bulungi naye batukola bikyamu byereere. Bwetubalaga okwagala batusasuza bukyaayi nakulumwa.  Y’ensonga lwaki tusaba Katonda atuyambe twerwanko,” Bobi Wine bweyalambuludde.

 

Tujune lwegasse ku nnyimba ez’enjawulo Kyagulanyi zafulumizza nga akolokota gavumenti ya Pulezidenti Museveni eyajja mu buyinza mu mwaka 1986, nga ennyimba endala kuliko; Ogenda, Situka Tutambule n’endala nnyingi.

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top