Amawulire

Bobi Wine Byeyagambye Abazungu Bikanze M7

Bobi Wine Byeyagambye Abazungu Bikanze M7

Pulezidenti Museveni alagidde abagezibe omuli ISO ne ESO gattako minisitule y’ensonga ez’ebweru okuddamu okwetegereza akatambi komubanda wa Kabaka , Hon Robert Kyaggulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine ku bigambo ebikambwe byeyayogeredde mu lukungaana e Geneva mu Switzerland wiiki ewedde balabe bwe bimulungulwa.

Kino kidiridde abazungu okuyita Bobi Wine mu bukulu bwe nga akulira ekibiina kya opozikyoni ekisinga amaanyi mu Uganda ekyagyawo Col Kiiza Besigye era eyavuganya Pulezidenti Museveni mu kulonda okwabaddewo omwaka oguwedde ne bamusaba okwogerera mu lukungaana lwensi yonna olweddembe ly’,obuntu.

Yategekeddwa mu kibuga ekikulu Geneva ekya Switzerland era Bobi bamusabye okwogera ku mutwe  ogulaga engeri yokumamulako Gavumenti zabanakyemalira.

Bobi Wine eyabadde anekedde mu suuti yasoose okuwa abazungu ‘akapera’ mu luyimba lwe olwa ” we are fighting for freedom” yategeezezza ensi nti ekiri e Uganda kikambwe mu ffugabbi, enguzi, mwanawani, okusosola abawakanya Gavumenti nokubaggalira nti neddembe lyobuntu ttono era Nasaba batandike okuboola Gavumenti ya Museveni nokussa natti ku bamu ku bafuga nabo nokusala kubuyambi  Uganda bwefuna.

Okusooka Bobi yategeezezza nti teyali wakuyingira byabufuzi nti naye  munnamagye eyamuteeka basitoola ku mutwe bwe baali mu kifo ekisanyukirwamu mu 2005 weyabeerera olwomutawaana mu miziki nagula nemmotoka eye swaga Escalade yeeyamutanula.

” Yangamba nti ggwe ani ayeeraga? Tokimanyi nti lino eggwanga liriko bannanyinilyo?” Bobi bwe yategeezezza.

Yanyonyodde byazze ayitamu okuva olwo okutuuka lwe yavuganya ku kifo kyobubaka bwa Palamenti mu 2017, okutandikawo ekibiina kya people power ekyavaamu NUP , okusimattuka okutibwa mu Arua nebyaliwo mu kulonda kwomwaka oguwedde mwagambira nti akalulu kabbibwa.

Kyokka ensonda okuva mu Gavumenti zaategeezezza nti balina ebiragiro okwetegereza akatambi kano akasansanyiziddwa ku mikutu gya social media okulaba bwebakenganga.

” Bwekabeeramu kalebule Bobi wakuyitibwa anyonyole,bwemubaamu obulimba tujja kubulimbulula kubanga aba opozikyoni abasinga bamanyi kimu kwonoona” Ono bwe yagambye.

Yagaseeko nti.minisitule yeensonga ezebweru erina enkizo okutangaaza ensi yonna kubintu ebiyinza okuvvola ekitiibwa nerinya lyeggwanga buli kiseera.

Guno sigwemulundi ogusoose Bobi Wine okuwanika Uganda mu bazungu nokusaba bayimi

lirize obuyambi bwebawa Gavumenti.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top