Amawulire

Bobi Wine ne Besigye bali mu kattu.

 

Robert Kyagulanyi Ssentamu, nga ye Pulezidenti wa NUP, ne Dr.Kizza Besigye omu ku bakulira ekiwayi ky’ekibiina pkya FDC ekituula e Katonga bali mu kattu olw’okulemererwa okukkaanya ku ngeri y’okukwatamu situlago egoba pulezidenti Yoweri Museveni naddala mu kalulu ka 2026 akakubye kkoodi era akasuubirwa okubeera aka vvaawo mpitewo.

Bobi alangiridde ku TV ya CNN eya Amerika, yakakasizza ensi yonna nga bwagenda okuddamu okwesimbawo ku bwapulezidenti mu kalulu kka 2026 wadde nga yayita mu kusoomooza okw’amanyi mu kalulu ka 2021 ng’alumiriza nti abawagizi be bangi baakwatibwa ne baggulwako emisango  emifumbirire nga n’abamu bakyali mu makomera nga bawolereza mu kkooti z’amagye ate abalala ne battibwa nga waliwo n’abasimattuka n’ebisago ebyamanyi ddala ebitagenda kuva ku mibiri gyabwe.

Bobi yategeezezza nti singa asalawo essaawa eno n’ava mu situlago egoba obukulembeze obuliko mu buyinza, abeera ng’alidde olukwe mu bawagizi be abazze battibwa n’okumuyiirawo ennyo omubiri ngalina okusigala ng’alwana nga wano we yeegayiridde Abazungu naddala Abamerica okukomya okuwagira Museveni nga ba mu werezza ssente z’obuyambi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top