Rev. Bro. Fr. Annattoli Waswa, aziikiddwa olwa leero.
Ebikumi n’ebikumi by’abakristu betabye ku mikolo gy’okumuweekera, wakati mu kitambiro kya missa ekikulembeddwamu omusumba w’e Masaka Silverus Jjumba, Bishop w’e Kiyinda Mityana Anthony Zziwa, Ssaabasumba wa Kampala Paul Ssemogerere n’abasaserodooti abalala.
Okusinziira ku Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu bubaka bwayisizza ku mukutu gwe ogwa Tweeter, agambye nti Bro. Fr.Annattooli Waswa abadde munnaddiini abadde alina ekitone ky’obujanjabi, alemera ku mazima n’ebirala.
”Abadde munnaddiini omwetoowaze eyafuna ekitone eky’okujjanjaba abantu ng’akozesa eddagala ery’ekinnansi. Agasse bulungi eby’omwoyo; obuwangwa, n’ennono” Katikkiro
Omukolo gwetabyeko bannabyabufuzi bangi, omuli nr president wa NUP Robert Kyagulanyi.
Brother Father Annattooli Waswa abadde munnaddiini ate Omusawo ow’ekinnansi ajjanjabisa obutonde, aziikiddwa e Kiteredde ku mbuga ya Bannakalooli Brothers mu Buddu.
Br. Fr.Annattooli yafuna obwa Brother mu 1947, oluvannyuma n’afuna okuyitibwa okukwokuweereza Katonda ku Altaali entukuvu ng’Omusasserdooti era n’afuna Obusasserdooti mu 1977.
Br.Fr.Annattooli Wasswa yafuna ettutumu nga munna ddiini omukatoliki ali ku ddaali ly’Obusasserdooti eyasooka mu Uganda, okwesowolayo n’abeera omusawo “Omuganda” ng’ajjanjabisa eddagala ly’ekinnansi (Traditional Herbalist).
Brother-Father Annattooli Wasswa yazaalibwa mu 1926, alese azimbye eddwaliro ggaggadde e Kiteredde erijjanjabisa obutonde, ate nga litendeka n’abalala mu mulimu gwegumu.
Alese n’eddwaliro eddala okumpi n’enkulungo ye Kibuye mu Kampala, webajjanjabira mu kinnansi n’obutonde