Amawulire

Buganda evudeyo okuyamba abavubuka.

Obwakabaka bwa Buganda butegeezezza nti bwetegefu okulagana ne gavumenti awamu ne bannamikago abalala okusobola okuteekawo enteekateeka okusobola okuwa abavubuka emirimu.

Akulira bboodi y’ebyenjigiriza mu Buganda, Deborah Zawedde ategeezezza nti waliwo obwetaavu okuwa abavubuka obukugu obutuukana n’embeera.

Bino Omuk. Zawedde abyogeredde ku mukolo gw’okutikkira abavubuka 43 abakuguse mu by’okuyunga amasanyalaze g’ enjuba (Solar) mu nteekateeka eyakoleddwa aba Don Bosco Technical Institute e Luweero ng’eno yawagiddwa aba Sendea Academy.

Zawedde agamba nti nga Buganda balina abavubuka bangi abatalina mirimu nga weetaaga okubaawo ekikolebwa mu bwangu okusobola okutaasa ebiseera byabwe eby’omu maaso.

“Singa tugenda mu maaso n’okumala gatendeka bavubuka nga tetwekenenyeza bwetaavu buli ku katale ka mirimu, tugenda kuba tetulina kyetukola mukufunira abavubuka bano emirimu. Ebbula ly’emirimu kyekimu ku bizibu ebinene mu ggwanga essaawa eno,” Zawedde bwe yannyonnyodde.

Ye Ssenkulu wa Sendea Academy, Loy Kyozaire mu nteekateeka eno bakaganyula abantu 400 okuli abavubuka n’abantu abakulu nga babatendeka ku masanyalaze ga Solar omuli okuganyunga awamu n’okugaddaabiriza.

Ono asabye ebitongole ne kampuni okuvaayo bakwatagane ne Buganda okusobola okumalawo ekizibu ky’abavubuka abatalina mirimu kuba ebya Kabaka tebisosola mu mawanga.

Akulira ettendekero lya Don Bosco Technical Institute agamba nti enkolagana gyebalina ne Sendea Academy egenda kuyambako okuwa obukugu abaana b’eggwanga era kikendeeze ku kizibu ky’ ebbula ly’emirimu era kiyambe okuleetawo omutindo mu kisaaw kya amasanyalaze g’enjuba.

Ye akulira ekibiina ekitaba abayunga abantu ku masanyalaze g’enjuba, Douglas Baguma ategeezezza nti ebitundu ebiri wansi wa 30 ku buli 100 bebakozesa amasanyalaze g’enjuba mu ggwanga ekiraga nti akatale kakyali kagazi n’abalala okuyingira omulimu guno.

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top