Amawulire

Buganda yakutta omukago naba National Drug Authority.

Katikkiro Charles Peter Mayiga yategeezza nti Buganda yakukola omukago n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kulondoola eddagala mu ggwanga ki National Drug Authority okwongera  okuteereza ensonga z’ebyobulamu mu Buganda ne Uganda.

Ekirangiriro kino Owek. Mayiga yakikolera mu Bulange Mmengo bweyali asisinkanye abakungu ba National Drug Authority abakulemberwa Dr. David Nahamya nagamba nti  ekiseera kituuse abakola eddagala ly’obutonde bakwatagane n’ekitongole kino  okusobola okutambulira mu bulambulukufu.

Owek. Mayiga yannyonnyola nti Obwakabaka bufaayo nnyo ku bantu babwo era bukola buli kimu okulaba nti abantu babwo babeera balamu okusobola okuzza Buganda ku ntikko.

Mayiga yategeezza nti eddagala ly’obutonde lisobola okukola bulungi naye walina okubaawo enkolagana  n’okuwuliziganya wakati w’ekitongole ki NDA awamu n’abantu ab’enjawulo abanoonyereza ku ddagala ly’ ekinnansi n’obutonde.

Ono yagatako nti kati Buganda egenda kukwatagana n’ekitongole kino okulaba engeri abasawo abali mu ddagala ly’obutonde gyebasobola okulambikibwa wakati mu kugoberera ebbago eririwo ku nsonga eno.

Ye Minisita w’Ekikula kyabantu, ebyobulamu, ebyenjigiriza era avunaanyizibwa ku woofiisi ya Nnabagereka, Owek. Dr. Prosperous Nankindu, yategeezza nti Buganda erina enteekateeka ez’enjawulo okutumbula eby’obulamu kuba Kabaka ayagala abantu be nga balamu.

Ekitongole kino kyatandika mu 1993 era nga kivunanyizibwa okulaba ng’abantu bafuna eddagala etuufu ery’omutindo ate nga sirabuseere.

Akulira ekitongole kino,  Dr. David Nahamya yategeeza nti  asanyukidde eky’okukwatagana ne Buganda era nategeeza nti baliko kaweefube gwebatandise okulaba nti balwanyisa okukozesa ebiragalalagala mu baana abato  okusobola okutaasa ebiseera byabwe eby’omu maaso.

 

 

 

 

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top