ebyemizannyo

Bukifudu bwefuze empaka za Pearl

Omusinde gw’emmotoka z’empaka okuva mu Bukifudu gwalese ng’abawagizi baazo banyenya mitye.  Mmotoka zino ekika kya Ford Fiesta obwedda abamu bazivugirako ne ku mipiira ebiri, enduulu n’etta abalabi.

Ford zigenda zimenyawo Subaru ne Mitishubish era Duncan Mubiru ‘Kikakane’ munnayuganda asoose okugireeta mu mpaka zino bwe yagezezaako okutunka n’abagwira abazirina n’agikuba ekiggwo ku Mzuri Hotel e Namataba.  “Mundeke nyumirwe mmotoka mpya,” Kikankane bwe yagambye banne abaabadde basubira ekiggwo kino nga tanasimbula.  Bino byonna okugwaawo nga n’omuzungu eyagimuguza era makani we ng’atemya.

Nga COVID tanajja kifudu endala ekika kya Skoda Fabia, ng’evugibwa Manvir Singh Baryan yaleka bangi bawuniikiridde era ‘yalya’ Pearl emyaka esatu ejidiringana (2017-2019).   Empaka zino ziwagirwa Shell V-Power.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top