ebyemizannyo

Byotekeddwa Okumanya Ku’ Za Bulaaya Ezakamalirizo

Byotekeddwa Okumanya Ku' Za Bulaaya Ezakamalirizo

Wiiki eno empaka za Bulaaya ezabakirimanyi mu Europa ne Champion lwezikomekerezebwa nga era ttiimu eziva e Bungereza zitunuuliddwa nnyo. Ku za Champion, Manchester City ettunka ne Chelsea atenga mu Europa, Manchester United ettunka ne Villareal (Spain). Bino byotekeddwa okumanya nga empaka zino zikomekerezebwa.

Eza Champion.

Bani abali ku kamalirizo?

Champion: Manchester City ne Chelsea eze Bungereza zakuttunka omulundi ogwe 66.

Europa: Villareal eye Spain ne Manchester United eye Bungereza zakuttunka omulungi ogwa 50.

Zisambibwa ddi era wa?

Champion: Zakubeera mu kisaawe kya Estadio da Dragao mu kibuga Porto mu ggwanga lya Portugal  ku lwomukaaga nga 29-05-2021 ku ssaawa nnya ezakawungeezi.

Europa: Zaakubera mu kisaawe kya Gdansk mu kibuga Gdansk mu ggwanga lwa Poland ku lwokusatu nga 26-05-2021 ku ssaawa nnya ezakawungeezi.

Abawagizi banakirizibwa mu bisaawe?

Champion: Okusinzira ku bakulu ba liigi eno aba UEFA, buli ttiimu yakuweebwa abawagizi 6000, olwo ne tiketi entono zigende eri abalala abaagala okuva nga 24 omwezi guno.

Europa: Abakulembeze mu Poland bakiriza ebitundu 25 ku 100 okulaba omupiira, ekiraga nti abantu 9500 bebagenda okukirizibwa, nayenga buli ttiimu eweebwako tiketi 2000, olwo ezisigadde za bawagizi abalala.

Omuwanguzi atwala ki?

Champion: Omuwanguzi atwala ekikopo ekizitowa kilo 7.5 nga kiri mubuwanvu bwa sentimita 73 nekitundu, n’emidaali nga kwogase okukika mu mpaka za Champions liigi ejja. Atwala ensimbi eziwera obukadde 19 eza euro. (mu za Uganda obuwumbi 82 nekitundu)

Europa: Omuwanguzi atwala ekikopo ekizitowa kilo 15 n’emidaali 40 nga kwogasse okukiika mu liigi ya Champion omwaka ogujja. Atwala ensimbi obukadde 8.5 obwa euro. (obuwumbi bwa Uganda 36 n’obukadde 900)

Badiifiri abanaakomonta ffirimbi.

Champion: Antonio Miguel Mateu Lahoz owe Spain, alina emyaka 44.

Europa: Clement Turpin owa France myaka 38.

VAR enakozesebwa?

Video Assistant Referee yakozesebwa mu mpaka zombiriri nga bwekibadde okuva ku mitendera ejisooka.

Muwendo ki ogwa bakyusibwa ogunakirizibwa?

Nga bwekibaddenga ku mitendera egivuddeko, abasambi abanakyusibwa era bagenda kubeera bataano (5), naye singa omupiira kugenda mu luzannya olwokweyongerayo (extra time), olwo omusambi omu akirizibwa okukyusibwa mu dakiika ezo, wabula nga ttiimu ekirizibwa okubeera nabasambi 23 awamu.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top